Kkooti y’omulamuzi esookerwako ku Buganda Road mu Kampala efulumizza ekibaluwa ki bakuntumye, ekiyita omubaka we Kawempe North Muhammad Ssegirinya, okweyanjula mu kkooti olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano nga 15, omwezi guno Ogwekkumi, 2021 ku ssaawa 3 ez’okumakya wansi w’omulamuzi Karungi Doreen Olga.

Okusinzira ku kiwandiiko ekiteekeddwako omukono ssaabawaabi wa Gavumenti Jane Frances Abodo, Ssegirinya amanyikiddwa nga Mr. Update, wakati w’omwezi Ogwomunaana n’Ogwomwenda, 2020 mu Kampala, yasobola okweyambisa omukutu ogwa Face Book mu mannya ga ‘Ssegirinya Muhammad FANS PAGE’, okukunga abantu okwenyigira mu kwekalakaasa n’okukola effujjo ku kabinja k’abantu ku nsonga za Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Kigambibwa, Ssegirinya yategeeza nti singa bagezaako okutta Robert Kyagulanyi Ssentamu mu ngeri yonna, ekinabaawo, kigenda kubisaamu emirundi 40 kwebyo ebyaali mu ggwanga erya Rwanda mu kitta bantu kya 1994.

Omwogezi w’essiga eddamuzi, Jameson Karemani, agamba nti omusango gwatuuse mu kkooti, olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu nga 13, Ogwekkumi, 2021 era ekitongole ky’amakkomera, kitegeezeddwa, Ssegirinya okumuleeta mu kkooti, olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano.

Karemani agamba nti Ssegirinya bayinza okumutwala mu kkooti ng’omuntu oba okweyambisa enkola ya ‘zoom’ okuva mu kkomera e Kigo.

Wadde ayitiddwa olunnaku olw’enkya mu kkooti, mu kiseera kino ali ku limanda mu kkomera e Kigo ebbanga erisusse mu mwezi omulamba, oluvanyuma lw’okukwatibwa olwe kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, ekyaleka abantu abasukka abasukka 20 nga battiddwa.

Ssegirinya mu kkooti e Masaka, yaggulwako emisango egiwerako omuli egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu.

Emisango egyo, agiriko n’omubaka we Makindye West Allan Ssewanyana ssaako n’abantu abalala era bonna bali ku limanda mu kkomera e Kigo ne Kitalya.

Abantu abalala abali ku misango kuliko Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.

Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/293660369270668