Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) bakedde kulambula abasibe, abali ku limanda mu kkomera e Kigo, Muhammad Ssegirinya, (MR. Update) omubaka we Kawempe North ssaako ne Allan Ssewanyana owe Makindye West.

Bano bukya bakwatibwa ku misango omuli egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, bakulungudde ebbanga erisukka mwezi omulamba nga bali ku limanda.

Wabula, Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ng’ali wamu ne Ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya, omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi n’abamu ku famire za basibe, bakedde kulambula ku basibe.

Oluvuddeyo, Kyagulanyi agambye nti Ssegirinya ne Ssewanyana bonna bakyalumizibwa olw’engeri gye baddamu ne bakwatibwa mu ngeri y’obukambwe.

MR. Update akyalumizibwa ekigere era kyongedde okuzimba ate Ssewanyana naye alumizibwa mu ngeri ez’enjawulo.

Wadde Ssegirinya, Ssewanyana bali ku limanda ku misango gya naggomola, Kyagulanyi agamba nti bonna, tebalina misango wabula Gavumenti egezaako okulwanyisa abakulembeze ku ludda oluvuganya.

Mungeri y’emu agumizza bannayuganda nti abasibe balina essuubi nti essaawa yonna bakudizibwa eddembe lyabwe.

Ate kabiite wa Ssegirinya owokubiri (2), Twahira Akandinda agambye nti Daddy Ssegirinya amugumizza okusigala nga mugumu.

Agamba nti bba, tali mu mbeera nnungi nga yetaaga obujanjabi, ekigere kyongedde okumuluma.

Eddoboozi lya Twahira
Mukyala wa Ssegirinya

Sabiiti ewedde, Ssegirinya bwe yali asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road, okumusomera emisango gy’okukuma omuliro mu bantu, omukyala Nanfuka Fatuma, yavaayo nagamba nti ye mukyala wa MR. Update omutuufu.

Fatuma ng’ali ku kkooti

Fatuma yategeeza nti baludde ne Ssegirinya, kwe kusaba omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okusonyiwa bba.

eddoboozi lya Fatuma

Ku misango gya naggomola, Ssegirinya ne Ssewanyana abali ku misango gye gimu n’abantu abalala abasukka mu 10 omuli Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.

Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=o4lf-ckdaSk