Kkooti enkulu e Mubende – Mityana esazizaamu obuwanguzi bwa Joyce Bagala ng’omubaka omukyala owe Mityana era omulamuzi alagidde baddemu okulonda.

Mu kkooti, Minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba, yaddukirayo ng’awakanya ebyava mu kulonda.

Mu kulonda okwali mu Janwali, 2021, Bagala munnakibiina ki NUP, yawangula n’obululu 64, 633 ate Nabakooba eyali akutte kaadi y’ekibiina ki NRM, yakwata kyakubiri n’obululu 48, 322.

Minisita Judith ne Joyce

Wabula mu kkooti, Nabakooba agamba nti mu kulonda, Bagenti be batisibwatisibwa era wadde yaddukira ku Poliisi, teyafuna kuyambibwa, Bagala yenyigira mu kubba akalulu, okukyusa ebivudde mu kulonda ssaako n’okugulirira abalonzi.

Wabula omulamuzi Emmanuel Baguma  akkiriziganyiza n’oludda oluwaabi era obuwanguzi bwa Bagala busaziddwamu ssaako n’okulagira okuddamu okulonda.

Wadde kkooti eragidde baddemu okulonda, Bagala agamba nti agenda kujjulira ku kisaliddwawo kkooti.

Agamba nti tewali kubusabuusa kwona yawangula okulonda

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/10/Bagala-One-Final.mp3
Eddoboozi lya Bagala

Ate Nabakooba agamba nti Omutonzi ayanukudde essaala ze kuba asobodde okuwangula omusango.

Mu kkooti abadde omusanyufu era atendereza amazima agabadde mu kkooti.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/10/Nabakooba-Wins.mp3
Eddoboozi lya Nabakooba

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=QKlzjTr6Ojw