Ekiri mu ggwanga erya Sudan mu kibuga Khartoum, bannansi beyongedde okweyiwa ku nguudo, okwekalakaasa olw’ebigambibwa nti amaggye gazzeemu okuwamba obuyinza.

Ku nguudo, abekalakaasi beyongedde okwokya ebipiira, amaggye geyongedde obungi, okutangira abantu okutambula.

Abantu kati bali ku nguudo

Mu bantu abali mu kwekalakaasa mwe muli n’abaana abali myaka 10 ssaako n’abakadde abasukka emyaka 50.

Ennyonyi zonna eziyingira ekibuga Khartoum ssaako n’okufuluma ziyimiriziddwa nga n’ekisaawe kye nnyonyi ekya Khartoum International Airport kizingiddwako amaggye.

Bali mu kwekalakaasa

Okusinzira ku Minisitule y’amawulire, amaggye gasazeeko ekitebe kya Ttiivi y’eggwanga ssaako ne Laadiyo mu kibuga Khartoum nga waliwo n’abakozi abakwattiddwa.

Emikutu migatta bantu omuli Face Book, WhatsApp gyonna bagigyeko olw’okutangira abantu okutambuza amawulire.

Ebiriwo biraga nti amaggye getaaga obuyinza nga ssaabaminisita w’eggwanga eryo Abdalla Hamdok bamusibidde mu makaage nga waliwo n’abakungu mu Gavumenti omuli ne Baminisita 4 abakwattiddwa.

Abdalla Hamdok

Kigambibwa, abantu abali mu kwekalakaasa, bawakanya eky’amaggye okuwamba obuyinza ssaako n’okusiba Baminisita.

Sudan eyongedde okutabanguka oluvanyuma lw’amaggye okuwamba eyali omukulembeze w’eggwanga eryo Field Marshal Omar Hassan al-Bashir nga 11, Ogwokuna, 2019.

Bashir yali akulembedde Sudan okuva nga 16, Ogwekkumi, 1993 ng’omukulembeze w’eggwanga  nga yali omukulembeze owomusanvu (7).

Mu kiseera kino ali mu kkomera ku misango egy’enjawulo omuli okwenyigira mu kutta abantu n’emisango emirala.