Ekintu ekiteeberezebwa okubeera bbomu kibwatukidde mu bbaasi ya Swift Safaris, akawungeezi ka leero era abantu babiri (2) bafiiriddewo nga waliwo n’abasimatuuse n’ebisago era baddusiddwa mu malwaliro okufuna obujanjabi.

Bbaasi namba UAU 989T, ekintu kibwatukidde munda ku kyalo Lungala mu Tawuni Kanso y’e Mpigi ku ssaawa 11:20 ez’akawungeezi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka era kigambibwa ebadde edda mu disitulikiti y’e Bushenyi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi y’oku nguudo, Nampiima Faridah, abamu ku balumiziddwa kuliko addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Bushenyi Kityo Mwanga.

Ate omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agamba nti bbaasi evudde Kampala okudda e Bushenyi.

Enanga agamba nti Poliisi esindise basajja baayo abakugu mu kutegula n’okwekeneenya bbomu, okuzuula ekituufu wabula ng’abantu, battiddwa.

Kinnajjukirwa nti ku Lwomukaaga ekiro, abatujju baakola obulumbaganyi mu kifo ekimu ekisanyukirwamu e Komamboga mu Divizoni y’e Kawempe.

Omuntu omu yattibwa ssaako n’okulumya abasukka musanvu (7) wabula Poliisi mu kunoonya abatujju, abakabinja ka Isisi, bewaanye nti beebakoze obulumbaganyi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6b5sX6V5dbs