Ssemujju atabuse!

Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah alabudde abakiise ba Palamenti okomya okutambuza amawulire agasiiga enziro, ekitongole ekiramuzi, ku bantu abakwattiddwa bwekituuka ku nsonga y’okweyimirirwa.

Sipiika Oulanyah okuvaayo, kidiridde omubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, okulaga nti abalamuzi boongedde okutya mu kutambuza emirimu gyabwe bukya ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avaayo, okuwakanya eby’okuyimbula abantu abakwattiddwa ku misango gya nnagomola.

Museveni agamba nti okuyimbula abantu kyongedde okunyiza abantu okutwalira amateeka mu ngalo ssaako n’okweyongera okumenya amateeka.

Mp Ssemujju

Wabula mu Palamenti akawungeezi ka leero, Ssemujju agamba nti ebigambo by’omukulembeze w’eggwanga, y’emu ku nsonga lwaki bannakibiina ki NUP, Muhammad Sseggirinya, omubaka we Kawempe North ne Allan Ssewanyana owe Makindye West, Omulamuzi yagaanye okubayimbula olw’okutya okunyiiza omukulembeze.

Eddoboozi lya Ssemujju

Wabula sipiika Oulanyah alabudde abakiise ba Palamenti okuwa ekitiibwa ebitongole bya Gavumenti nga singa bisiigibwa enziro, biswaza eggwanga ssaako ne bannansi okubiyisaamu amaaso.

Sipiika Oulanyah

Sipiika Oulanyah agamba nti kkooti, zitambulira ku sseemateeka nga zirina obuyinza okuyimbula omuntu yenna oba okugaana nga besigama ku nsonga eziri mu kkooti.

Olunnaku olw’eggulo, omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Lawrence Tweyambe, yagaanye okuyimbula Ssegirinya ne Ssewanyana.

Omulamuzi yagambye nti singa bayimbulwa, basobola okweyambisa obuyinza bwabwe ng’abakiise ba Palamenti, okutataaganya okunoonyereza.

Mungeri y’emu agamba nti bali ku misango gya nnagomola nga singa bayimbulwa, bayinza okudduka mu ggwanga ate wadde balwadde, amakkomera okuli Kigo ne Luzira, basobola okubajanjaba.

Ensonga ezo, bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, bagamba temuli ggumba okulemesa okuyimbula abantu be.

Ate Poliisi ekutte abantu basatu (3), ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa eby’obutujju wansi w’akabinja ka Allied Democratic Forces – ADF.

Abakwate bali ku ddimu ly’okutambuza ssente ez’okutambuza ebikolwa eby’ekitujju.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti abakwate kuliko Sanyu Nakitende, Abdul Raman Waibi ne Aisha Katushabe omutuuze we Hoima.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru agambye nti, Nakitende ne Waibi babadde bakafuna USD 110,000 ( obukadde obusukka mu 300 mu ssente za Uganda) era Katushabe yabadde afunye ku ssente ezo, okutambuza emirimu.

Poliisi era egamba nti bafunye amawulire nti waliwo ssente ezitambuzibwa abasuubuzi bamafuta ssaako n’abagagga abali mu by’okutunda amayumba, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju era USD 400,000 zayingidde eggwanga mu ngeri emenya amateeka.

Enanga mu ngeri y’emu awanjagidde bannansi buli omu kuba mbega wa munne nga kino kye kiseera okuyambagana mu kulwanyisa ebikolwa eby’ekitujju.

Mu nnaku 3, abantu babiri (2) battiddwa bbomu okuli eyattibwa e Komamboga, e Kawempe ku Lwomukaaga ekiro ssaako n’omu eyattiddwa (Matovu Isaac myaka 23 eyabadde omutujju), akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande ku kyalo Lungala mu Tawuni Kanso y’e Mpigi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/341314184419047