Poliisi ekutte abantu basatu (3), ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa eby’obutujju wansi w’akabinja ka Allied Democratic Forces – ADF.
Abakwate bali ku ddimu ly’okutambuza ssente ez’okutambuza ebikolwa eby’ekitujju.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti abakwate kuliko Sanyu Nakitende, Abdul Raman Waibi ne Aisha Katushabe omutuuze we Hoima.
Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru agambye nti, Nakitende ne Waibi babadde bakafuna USD 110,000 ( obukadde obusukka mu 300 mu ssente za Uganda) era Katushabe yabadde afunye ku ssente ezo, okutambuza emirimu.
Poliisi era egamba nti bafunye amawulire nti waliwo ssente ezitambuzibwa abasuubuzi bamafuta ssaako n’abagagga abali mu by’okutunda amayumba, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju era USD 400,000 zayingidde eggwanga mu ngeri emenya amateeka.
Enanga mu ngeri y’emu awanjagidde bannansi buli omu kuba mbega wa munne nga kino kye kiseera okuyambagana mu kulwanyisa ebikolwa eby’ekitujju.
Mu nnaku 3, abantu babiri (2) battiddwa bbomu okuli eyattibwa e Komamboga, e Kawempe ku Lwomukaaga ekiro ssaako n’omu eyattiddwa (Matovu Isaac myaka 23 eyabadde omutujju), akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande ku kyalo Lungala mu Tawuni Kanso y’e Mpigi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.