Kyaddaki ebitongole byokwerinda bizudde omutujju, eyateze bbomu, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu bbaasi ya Swift Safaris, eyabadde evudde mu Kampala mu Kisenyi okudda mu disitulikiti y’e Bushenyi.

Bbomu eyabadde mu bbaasi namba UAU 989T, yabwatuukidde ku kyalo Lungala mu Tawuni Kanso y’e Mpigi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka ku ssaawa 11 n’ekitundu ez’akawungeezi.

Wabula ebitongole ebyokwerinda, bigamba nti omutujju, ye musajja eyafudde Matovu Isaac myaka 23 abadde omutuuze mu zzooni y’e Kamuli A e Kireka.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agambye nti Matovu yabadde ayambadde omusipi ne vesiti ebya bbomu.

Enanga era agamba nti waliwo omusaabaze eyabadde awerekera omutujju, eyavudde mu bbaasi nga bakayita e Maya nga yefudde nti aliko ebiwandiiko bye yabadde anoonya ebimukkiriza okugenda ebweru w’eggwanga.

Mungeri y’emu alambuludde ebyasangiddwa ne Matovu, oluvanyuma lw’okweta n’okulumya abantu.

Omulambo gwa Matovu gwasangiddwa ne limooti eyakozeseddwa okutegula bbomu, amasasi g’eggaali ssaako ne waya z’amasanyalaze ezigambibwa okweyambisibwa okukola bbomu.

Enanga era agamba nti wadde Matovu wadde yesse, abadde anoonyezebwa ebitongole ebiri ku ddimu ly’okulwanyisa obutujju mu ggwanga era abadde yeeyita musajja musiraamu mu linnya lya Mustafa.

Poliisi egamba nti omukyala eyabadde aliraanye omutujju Matovu teyafunye wadde obuzibu kyokka omusirikale waabwe Adrian Kwetegereza, akola ng’addumira Poliisi mu bitundu bye Bushenyi eyabadde atudde emabega we, yakoseddwa nnyo era mu kiseera kino ali mu ddwaaliro nga yafunye ebisago ku maggulu.

Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agamba nti embizzi z’abatujju ezirumba abantu, zigenda kolebwako kuba tewali ayinza kweyambisa ffujjo kutabangula ggwanga.

Agamba nti ebikolwa eby’okulumba bbaasi n’okutega bbomu, bikolwa bya kitujju.