Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among  asabye Ababaka okukomya okwogera ebigambo ebitali bituufu  ku bulamu obw’omubaka we Kawempe North Muhammad Ssegirinya kuba ali mu ddwaliro erya Murchison bay mu Kkomera lye Luzira afuna obujanjabi obusaanidde.

Sipiika Among agamba nti Palamenti erina obusoobozi okujanjaba omubaka Ssegirinya kyokka balina okulinda ekkomera lya Murchison bay, okubategeza mu butongole nti balemereddwa okumujanjaba.

Ebigambo bya Sipiika Among, biwaliriza  akulira oludda oluvuganya mu Palamenti munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) Mathius Mpuuga okutegeeza Palamenti nti olwaleero akyaliddeko omubaka Ssegirinya  naye embeera gy’alimu eyungula amaziga mu kiseera kino.

Mpuuga awanjagidde Palamenti okuyingira mu nsonga za Ssegirinya nga yetaaga obujanjabi obusanidde obusinga kw’obo obuli mu kkomera e Luzira.

Agamba nti wadde Gavumenti erina obuyinza okutwala mu kkooti omuntu yenna, tebasobola kutwala mu kkooti omuntu nga mulwadde nnyo.

Eddoboozi lya Mpuuga

Wabula sipiika Among agamba nti Palamenti yeetegese okutwala Ssegirinya okufuna obujanjabi singa bafuna okutegeezebwa nti ekkomera balemereddwa.

Ssegirinya n’omubaka we Makindye West Allan Ssewanyana bali ku limanda mu kkomera e Kigo ku misango egyenjawulo.

Bali ku misango musanvu (7) omuli egy’obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju, okwagala okutta abantu mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu N’ogwomunaana, 2021 era abantu 27 battibwa.