Abategesi b’ebivvulu basabye Gavumenti ebakkirize bategeke ebivvulu mu nnaku enkulu ezikubye kkoodi omuli Ssekukkulu n’olusooka nga tuyingira omwaka omuggya ogwa 2022.

Bano nga bakulembeddwamu  Ssabavvulu Balam Barugahare bagamba nti engeri Gavumenti gy’eyongeddeko okuleeta eddaggala erigema Covid-19, Gavumenti yandibadde ebakkiriza okutegeka ebivvulu.

Ssabavvulu Balam agamba nti singa Gavumenti ebakkiriza okutegeka ebivvulu, bagenda kweyambisa omukisa ogwo, okuyita abantu okwegema Covid-19 n’okuyisa ekiragiro nti omuntu yenna okuyingira ekivvulu, alina okulaga kaadi nti mugeme.

Ssabavvulu Balam

Mungeri y’emu Balam agamba nti olwa Covid-19, bangi ku bali mulimu gw’okutekateeka ebivvulu basuddewo omulimu olw’embeera kyokka singa gavumenti ebawa omukisa okutekateeka ebivvulu mu biseera bino, kisobola okubayamba okudda engulu.

Eddoboozi lya Balam

Okusaba kwabwe bakutegeezezza Gen Elly Kayanja eyakiikiridde Gen Salim Saleh, abategesi b’ebivvulu nga batoongoza SACCO yaabwe eyatuumiddwa National Events and Bivulu Promoters Multipurpose Cooperative Society Ltd.

Mu bubaka bwa Gen. Saleh obwasomeddwa Gen. Elly,  yagambye nti obutakaanya, obutali bwesigwa n’okusika omuguwa mu bategesi b’ebivvulu, y’emu ku nsonga lwaki ne Gavumenti ekyalemeddwa okuvaayo okubayamba.

Wabula ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yasuubiza okuddamu okuggulawo eggwanga mu Janwali, 2022.

Nga buligyo, okuyingira omwaka omuggya, tulina okwaniriza amazaalibwa ga Mukama waffe Yesu Kristo, mu kiseera kino nga tuyingira omwaka ogwa 2022, tulina okusiibula omwana azaalibwa mu ssanyu newankubadde abantu bangi bakoseddwa nnyo olwa Covid-19 era ne Pulezidenti Museveni yasuubiza okuggulawo eggwanga.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga mu kiro ekikeeseza olwaleero ku Lwokutaano, yagambye nti, “Omwaka guno wegunagwerako mu Desemba 2021 tujja kuba tufunye ddoozi z’eddagala erigema corona eriwera obukadde 23 nga lino ligenda kugema abantu abawera obukadde 12. Sirowooza nti bannayuganda bagaanye bugaanyi okwegemesa naye tebagambiddwa kyakukola. Njagala okubategeeza nti eddagala erigema gyeliri ku masomero n’amalwaliro era twagala eggwanga lyonna ligulwewo mu Janwali wa 2022. Olw’okuba eddagala erigema COVID-19 weeriri, eggwanga ligenda kuggulwawo mu Janwali wa 2022 si nsonga. Ggwe onaaba mugeme oba nedda, singa ekintu kyonna kinagenda obubi ojakwenenya wekka. Wadde amawanga amalala galumbiddwa ekirwadde kya Corona emirundi egisoba mwena (4) naye Uganda kigirumbye emirundi 2 egyokka”.

Ate ku nsonga y’ebyokwerinda, Pulezidenti Museveni yagambye nti, “Waliwo emiwaatwa mu by’okwerinda by’eggwanga. Abazzi b’emisango abamu bakolagana ne poliisi, abalala bakola tebafaayo so nga ne Tekinologiya gwetulina tatuukana bulungi namutindo. Tewali  kijja kutabangula eggwanga era bannayuganda musigale nga muli bakakamu nnyo“.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/574543130547993