Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja n’omukyala abaalabikidde mu katambi nga bali kwesa mpiki ebbali w’ekkubo.

Akatambi, obwedda katambula ku mikutu migatta omuli Face Book, WhatsApp okuva olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu.

Mu katambi, omusajja eyabadde ku ggaali, yagivuddeko okulemesa omukyala okudduka era wadde omukyala yabadde agezaako okulemesa omusajja okubaako kyakola ku luguudo, emisana ttuku ng’abantu balaba n’okutambuza emirimu gyabwe, omusajja yalemeddeko.

Oluvanyuma, omusajja yasobodde okutambuza emikolo ku mpaka mu ddakika ng’emu n’ekitundu, ekyawaliriza n’omukyala okumuyambako, okukwata amayembe g’eggaali obutagwa.

Wabula okunoonyereza kulaze nti omusajja n’omukyala batuuze mu disitulikiti y’e Kisoro era bonna bakwattiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, omusajja ye Hafashimana Paskari myaka 29 nga musajja Mufumbira era mutuuze ku kyalo Migeshi mu ggoombolola y’e Nyakinama mu disitulikiti y’e Kisoro ng’avuga bodaboda ya ggaali ate omukyala ye Muhawemimana Calodine Mukamulenzi myaka 24 nga munnansi wa Rwanda.

Poliisi egamba nti bano okwerigomba, ekikolwa kyabadde ku luguudo mu Monicipaali y’e Kisoro era baguddwako emisango okwefuula ekitagasa mu bantu.

Maate agamba nti singa emisango gibasinga, boolekedde okusibwa wakati w’emyaka 7 ku 8 era essaawa yonna bagenda kubatwala mu kkooti.

Wabula abamu ku batuuze abagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, bagamba nti omusajja bakaanyiza n’omukyala okumutwala ku ggaali gye yabadde agenda oluvanyuma amusasule mu ngeri y’okwerigomba.

Kigambibwa omukyala teyabadde na ssente kyokka bwe yabadde asemberedde okutuuka gye yabadde agenda, yabadde atandiise okwekyanga.

Abatuuze bagamba nti ekyo, kyekyawalirizza omusajja okumukozesa wakati mu kubbo, okusobola okuteeka mu nkola endagaano yaabwe.