Ekimotoka ky’amafuta kikutte omuliro mu ggwanga erya Sierra Leone mu kibuga Freetown oluvanyuma lw’okutomera loole era abantu 98 bafiiriddewo.

Oluvanyuma lw’akabenje, amafuta gayiise, ekyavuddeko omuliro okutambula mu bwangu, okwokya emmotoka ez’enjawulo n’okutta abantu.

Amawulire galaga nti loole yonna yaweddewo, bbaasi, amadduka n’akatale akaabadde okumpi, byonna byaweddewo.

Ekimotoka ky’amafuta kikutte omuliro

Brima Bureh Sesay, akulira ekitongole ekikola ku bigwa tebiraze agamba nti balina okweyambisa Ndaga butonde okuzuula famire z’abagenzi kuba gyonna bisiriiza.

Emirambo mingi gyagiddwa mu mmotoka nga bisiriiza.

Abantu nga basobeddwa

Wabula amyuka omukulembeze w’eggwanga Juldeh Jalloh agamba nti abantu bonna abali ku bisago, balina okufuna obujanjabi ku bwereere.

Ate Meeya w’ekibuga Freetown Yvonne Aki-Sawyerr, agamba nti abantu abantu mu 92 bali mu ddwaaliro naye nga bali mu mbeera mbi.