Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ki Forum for Democratic Change-FDC era ssentebe w’ekisinde ki People’s Front for Transition (PFT) Dr. Kizza Besigye n’omubaka wa Monicipaali y’e Mityana Munna National Unity Platform (NUP) Francis Zaake, boolekedde okuvundira mu kkomera singa banaalemwa, okwewozaako ku misango egibaguddwaako.

Dr. Besigye ne Zaake, bali ku misango gy’okweyambisa amakkubo agatali mu mateeka, okutekateeka okuvunika Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni eyakalondebwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Besigye ne Zaake bayitiddwa okugibwako sitetimenti ku bigambo byabwe, ebitambuzibwa, ebitali mu mateeka.

Enanga agamba nti Besigye ne Zaake bagamba nti balina engeri ez’enjawulo zebagenda okweyambisa okuggyako Gavumenti ya Pulezidenti Museveni era y’emu ku nsonga lwaki bayitiddwa okuyambako okulaga Poliisi engeri ze balina.

Mungeri y’emu agamba nti aba NUP ne PFT balina entekateeka z’okutabangula eggwanga, abantu okwekalakaasa okukyusa obuyinza mu ngeri emenya amateeka era ebitongole byokwerinda byongedde okwenyweza okutangira embeera.

Eddoboozi lya Enanga

Ate ku nsonga z’ekibiina omuli NUP, okwenyigira mu kutabangula eggwanga, abakulu mu kibiina ekyo, bagamba nti Poliisi eri mu kunoonya webbira nsimbi z’aggwanga nga bateekawo ebintu eby’obulimba.

Omwogezi w’ekibiina Jeol Ssenyonyi akangudde ku dooboozi ku nsonga eyo ng’asinzira ku kitebe e Kamwokya era agamba nti Enanga ne banne, kirabika bali mu kubba ssente.