Ekintu ekigambibwa okuba bbomu kibwatuse ku kyalo Kujji I mu Tawuni Kanso y’e Kirinyi mu disitulikiti y’e Kibuku era abantu babiri batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Bukedi North, ASP Immaculate Alaso, abaana abakoseddwa kuliko Namwoyo Ivan myaka 5 ne Kagoro Innocent myaka 6.
Alaso agamba nti abaana batwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Tirinyi okufuna obujanjabi.

Mungeri y’emu agamba nti Poliisi wetuukidde ng’ekifo kyonna abatuuze bakirinyiridde wabula abasirikale abakugu mu kwekebejja bbomu bayitiddwa okwekeneenya ekibwatuse.

Poliisi egamba nti ekintu ekigambibwa okuba bbomu abaana bakiggye mu lusuku nga bali mu kuzannya.

Uganda mu kiseera kino eri ku bwerinde olwa bbomu okweyongera okutta abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era kigambibwa zikulembeddwamu abatujju b’akabinja ka ADF.

Mu kiseera kino, ebitongole by’okwerinda ebiri ku ddimu ly’okulwanyisa obutujju mu ggwanga, birina abantu 36 abagambibwa okwenyigira mu kutega bbomu e Komamboga e Kawempe ne mu mu bbaasi ya Swift Safaris ku lwe Masaka.