Kkooti y’omulamuzi w’eddaala eryokubiri e Kosoro esalidde ab’omukwano babiri (2) okusibwa emyezi 30 mu kkomera lwa kunyumya kaboozi mu kifo eky’olukale okwefuula ekitagasa mu bantu.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Peter Muhendo,  nga 2, November, 2021, Colodina Muhawe Mukamulenzi myaka 24 nga munnansi wa Rwanda ne Paskari Hafasimana ng’avuga bodaboda ya ggaali, baakwatibwa ku katambi nga bali mu kusinda mukwano ku luguudo ku ssaawa 10 ez’akawungeezi okumpi ne Kisoro Central Pharmacy ku luguudo lwe Kisoro – Bunagana, ekintu ekimenya amateeka.

Mu kkooti, mu maaso g’omulamuzi Fred Gidudu, bonna bakkiriza omusango kwe kusaba omulamuzi ekibonerezo ekisamusaamu

Amangu ddala omulamuzi yabasalidde okusibwa emyezi 30 okuba eky’okulabirako eri abantu abalala.