Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Henry Isabirye Kaweesa alabudde okusiba famire y’omulenzi Mathew Kirabo, ali ku misango gy’okutta eyali muganzi we Desire Mirembe.
Omulamuzi alagidde oludda oluwawaabirwa nti mu sabiiti emu yokka, balina okuleeta Kirabo, ali ku misango gy’okutta omuntu nga singa kirema, nnyina Amelia Wabulendo ne banne, abakkiriza okumweyimirira, bonna bagenda kukwattibwa.
Gye buvuddeko, kkooti yafulumya ekibaluwa ki bakuntumye nga Kirabo, bamwetaaga mu kkooti olwaleero wabula talabiseeko.
Mu kkooti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Happiness Ainebyona, lugambye nti, bakoze okunoonyereza nti Kirabo, talinyangako mu ddwaaliro ekkulu e Jinja era ebigambibwa nti yali mulwadde byabulimba.
Kigambibwa, Kirabo yadduka mu ggwanga okwewala emisango ng’ali mu ggwanga erya America newankubadde ali ku misango gy’obutemu.
Desire Mirembe eyali muyizi ng’asoma obusawo ku yunivasite e Makerere, yatemulwa eyali muganzi we Kirabo mu 2015, omulambo gwe, ne gusuulibwa mu ssamba ly’ebikajjo e Lugazi.
Kigambibwa engeri Kirabo gye yatta muganzi we Mirembe, kabonero akalaga nti yalimu obusawo, okutegeera wa, walina okusala emisuwa okutta omuntu amangu.
Wabula waliwo ebigambibwa nti Kirabo yatta muganzi we Mirembe olw’okumuteebereza okufuna omusajja omulala ate nga yali amusuubiza omukwano gwabwe obutagwawo.