Omukulembeze w’eggwanga erya Mozambique Filipe Jacinto Nyusi agobye Minisita w’ebyokwerinda Jaime Augusto Neto, ekirese bannansi nga bewunya.
Neto agobeddwa nga wakayita ennaku ntono nga ne Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Amade Miquidade naye agobeddwa.
Wadde bannansi bakyebuuza lwaki omukulembeze w’eggwanga akoze enkyukakyuka, Pulezidenti tannaba kuwa nsonga yonna.

Wabula kigambibwa Pulezidenti akoze enkyukakyuka olw’ettemu, obuli bw’enguzi, okuwamba abantu, ebikolwa eby’ekitujju, obubbi okweyongera mu ggwanga, ekiraga nti Baminisita balemeddwa emirimu gyabwe.
Mu kiseera kino, abamu ku bannansi basabye omukulembeze w’eggwanga Nyusi, okuvaayo okutegeeza eggwanga lwaki akoze enkyukakyuka okusiinga okuumira bannansi mu nzikiza.
Bagamba, omukulembeze okukyusa Baminisita babiri abali ku byokwerinda, kiraga nti waliwo ensonga eyamaanyi lwaki baagobeddwa.
Pulezidenti Nyusi myaka 62 yakwata obuyinza okulembera eggwanga eryo nga 15, January, 2015