Omukyala munnanzi wa Zimbabwe myaka 26, eyazaalibwa ng’aliko obulemu, kyaddaki afunye omusajja era akubiddwa embaga.
Sinikiwe Kademaunga yazaalibwa nga talina mikono, amaviivi ssaako n’ebigere.
Kademaunga olw’essanyu, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ensi nga yafunye omusajja mu bulamu bwe.
Ng’omukyala omulala yenna, Kademaunga abadde mu laavu ne bba Reuben era agamba nti olw’amaanyi ga Katondo, yasobodde okufuna omusajja omutuufu okumwagala wadde aliko obulemu.

Mu Zimbabwe, Kademaunga y’omu ku bakyala abeegulidde erinnya mu kwogera ku nsonga enkulu mu ggwanga, okuzaamu essuubi abantu n’okusingira ddala abaliko obulemu nti obulema si butesobola.
Agamba nti bwe yali akyali muto, yafuna okusoomozebwa okwenjawulo omuli abantu okumuyisaamu amaaso, abamu okulowooza nti mwana muto era yali asembeza nnyo abaana abato okusobola okufuna emikwano n’okuzannya nabo.
Wadde mukyala aliko obulemu, alina ku ssente era y’omu ku bantu abaliko obulemu abavuddeyo okuyamba banaabwe.








