Omusajja atabudde abakyala abasamba ogw’ensimbi, ekivuddeko okulwanagana ssaako n’okweyambula wakati mu bantu okusakaanya.
Embeera eno, ebadde mu bitundu bye Kataba e Kabalagala mu Divizoni y’e Makindye, omu ku bakyala abasamba ogw’ensimbi Brenda Nalugemwa bw’atabukidde mukyala we munne Ritah Nabbanja nga naye mutunzi w’akaboozi, olw’omusajja akedde okwesanyusa.
Nalugemwa, agamba nti abadde afunye Kasitoma ategerekeseeko erya Alex ku ssaawa nga 5 ez’okumakya, era wakati mu kusinda omukwano, okumalayo ssente ze shs 3,000, Nabbanja, ayingidde akasenge nti omusajja, kasitoma we, ekivuddeko omusajja okudduka nga tamuwadde wadde 100.
Embeera eyo, evuddeko okulwanagana nga bonna berangira obwenzi era Nabbanja, akubiddwa nnyo nga ffeesi yonna ebadde ezimbye, bamwambudde bulawuzi ssaako n’okumuluma omugongo era yenna abadde atonnya musaayi.
Nalugemwa agamba nti embeera embi wakati mu kulwanyisa Covid-19, y’emu ku nsonga lwaki n’okufuna omusajja ku shs 3,000, olina okwebaka Katonda.
Mungeri y’emu agamba nti Nabbanja asukkiridde okulemesa abasajja okudda mu kitundu kyabwe kuba buli musajja amutwala nga bbaawe.
Wabula abatuuze mu bitundu bye Kataba, bagamba nti Covid-19 aviiriddeko bangi ku baana abawala okwetunda wakati w’emyaka 17 – 25, ekivuddeko n’endwadde z’obukaba okweyongera.
Mungeri y’emu basabye Poliisi okuyamba kuba bangi ku bakyala abasamba ogw’ensimbi benyigidde mu kumenya amateeka omuli okubba abantu n’okusingira ddala Bakasitoma abasajja omuli okutwala ebintu byabwe omuli ssente, okubba engoye, amassimu.
Lwaki okwetunda kweyongedde!
Mu Uganda, ebbula ly’emirimu lyeyongedde n’okusingira ddala abavubuka, ekivuddeko abaana abawala okwetunda okunoonya ensimbi okutambuza obulamu.
Olw’omuwendo gw’abaana abetunda okweyongera, abasajja basusse okubadondola nga mu bitundu omuli Kabalagala, Makindye, Kansanga, Ndeeba, Bwaise, Nansana, Wandegeya, Kawempe, Matugga n’ebitundu ebirala, abakyala betunda okuva ku shs 2,000.
Mu kwetunda, bagamba nti bakoze kyonna ekisoboka okunoonya emirimu naye nga tegirabika.
Kimenya mateeka!
Mu Uganda, kimenya amateeka omukyala yenna okwetunda wabula Poliisi egamba nti bafuna okusoomozebwa okwenjawulo okukwata abakyala ku misango gy’okwetunda.
Poliisi egamba nti okusaanga omukyala ng’ali ku kkubo, tekitegeeza nti Malaaya era y’emu ku nsonga lwaki Bamalaaya beyongedde obungi mu ggwanga kyokka kizibu nnyo okubakwata.