Omuyimbi Lydia Jazmine ayongedde okulumya abasajja abamwepikira kuba mu kiseera kino talina musajja.
Mu nsi yonna, buli musajja ayagala nnyo omukyala ng’alabika bulungi era Jazmine y’omu ku bawala abategeera okweteekamu ssente.
Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okutegeeza abawagizi be nti ali Kabale n’okulaga nti ddala Uganda kkula lya Africa, nsi nnungi, “I Woke Up In Kabale. Uganda Is Beautiful”, wabula abantu amaaso gabadde ku nyambala ye.

Mu kiseera kino, y’omu ku bawala abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Kapeesa, Feeling, I love you Bae n’endala wabula talina musajja amanyikiddwa.





