Omuyimbi Lydia Jazmine ayongedde okulya ku ssente ze nga okwetegekera okuddamu okunoonya ensimbi singa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akkiriza abantu okuddamu okutekateeka ebivvulu mu Janwali 2022.
Jazmine ku wikendi yonna yabadde mu disitulikiti y’e Kabale era yabadde ku Lake Bunyonyi ne mikwano gye.
Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okulaga nti yekubye ebifaananyi ng’ali kumpi n’ekidiba ekiwugirwamu (Swimming Pool), “Just Here Slaying The Pool“.








