Kkampuni y’essimu eya Airtel Uganda etongozza Kampeyini y’okudizza Bakasitoma baabwe nga tusemberedde okumalako omwaka ogwa 2021.

Kampeyini etuumiddwa ‘Airtel Money after Money’, abantu okuwangula ensimbi.

Manoj Murali akulira Airtel mu Uganda, agamba nti kampeyini ya Airtel Money after Money, egendereddwamu okuddiza ku Bakasitoma baabwe.

Muruli agamba nti omuntu yenna okusindika ssente oba okuggyayo ssente ku Mobile Money n’okusasula ebintu eby’enjawulo omuli amazzi, TV, amasanyalaze, Schools Fees n’ebirala, aba ayingidde butereevu mu kazannyo k’okuwangula ssente.

Omukolo ku Serena Hotel mu Kampala

Andrew Mugamba, akola nga ssenkulu wa Mobile Money, agamba nti buli muntu yenna asindika n’okuggyayo ssente, aba ayingidde mu kazannyo k’okuwangula ssente.

Mu Kampeyini eno, ba Agenti 100 bagenda kuwangula ssente 100,000 buli lunnaku ate buli mwezi, Bakasitoma 10, bagenda kuwangula ssente 10,000,000.

Ssaawa ya kuwangula

Mungeri y’emu agamba nti ba Agenti 10 bagenda kuwangula ssente 2,000,000 buli omu buli mwezi era Kampeyini egenda kuba ku Ttiivi ez’enjawulo omuli NBS, BBS ne Bukedde TV okuva ku Mmande okutuusa ku Lwokutaano ku ssaawa 2:55 – 3 ez’ekiro.

Omuntu yenna omuwanguzi, alina okufuna essimu okuva ku nnamba 0200100100 era Kampeyini yonna ya 1.5B