Maama akubye omulanga!
Famire y’omubaka we Kawempe ey’omambuka Muhammad Ssegirinya, bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino era ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni okusonyiwa omuntu waabwe kuba embeera gy’alimu si nungi.
Bano bagamba nti Ssegirinya mu ddwaaliro e Mulago gy’ali, embeera si nnungi, nga singa tebamwanguyira, ayinza okweyongera okunafuwa.
Enkya ya leero, Ssegirinya abadde alindiriddwa mu kkooti ya Buganda Road mu Kampala ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu era aba famire ssaako ne mikwano gye, bakedde mu kkooti.
Kigambibwa, Ssegirinya wakati w’omwezi Ogwomunaana n’Ogwomwenda, 2020 mu Kampala, yasobola okweyambisa omukutu ogwa Face Book mu mannya ga ‘Ssegirinya Muhammad FANS PAGE’, okukuunga abantu okwenyigira mu kwekalakaasa n’okukola effujjo ku kabinja k’abantu ku nsonga za Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.
Kigambibwa, Ssegirinya yategeeza nti singa bagezaako okutta Robert Kyagulanyi Ssentamu mu ngeri yonna, ekinabaawo, kigenda kubisaamu emirundi 40 kwebyo ebyaali mu ggwanga erya Rwanda mu kitta bantu kya 1994.
Wabula omulamuzi Doreen Karungi, ayongezaayo omusango okutuusa 2, omwezi ogujja ogwa Desemba, 2021, nga kivudde ku Ssegirinya obutaba mu kkooti.

Oluyongezaayo omusango, maama wa Ssegirinya Ssanyu Nakajumba akubye omulaanga era agamba nti mutabani we talina misango.
N’olunnaku olwaleero, mu kkooti afulumye bamukwatiridde ng’ali maziga era azzeemu okusaba omukulembeze w’eggwanga, okuyimbula mutabani we Ssegirinya kuba ye mutabani yekka amuyamba.
Mungeri y’emu omu ku bakyala ba Ssegirinya, Twahira Akandinda, agambye nti embeera ya bba, eyongera okuyungula amaziga.
Akandinda naye asabye omukulembeze w’eggwanga, bba Ssegirinya okuyimbulwa, oba okumukkiriza okufuna obujanjabi okusinga okulinda okufiira mu ddwaaliro.
Mu kusooka, Ssegirinya yakwattibwa n’omubaka we Makindye West Allan Ssewanyana ku misango gy’ekitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omugezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, omwafiira abasukka 20.
Mu kkooti, yaggulwako emisango egy’enjawulo omuli egy’obutemu, obutujju n’emisango emirala wabula wakati mu kusaba okweyimirirwa mu kkooti enkulu e Masaka, kkooti ku Buganda yamuyita ku misango egyo, egy’okukuma omuliro mu bantu.
Mu kiseera kino emisango gyonna ali ku limanda newankubadde akyali mu ddwaaliro e Mulago wakati mu byokwerinda nga yetooloddwa abasirikale b’ekitongole ky’amakkomera.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko lugamba nti lufundikidde okunoonyereza kwabwe ku misango gya Ssegirinya ate munnamateeka wa Ssegirinya era omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende, agamba nti Ssegirinya akubye ku matu era kati, basobola okumuleeta mu kkooti, emisango okutandiika.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ohDSlVDjias