Abantu abatamanyiddwa muwendo bafiiridde mu Kampala enkya ya leero olw’ebintu ebitamanyiddwa, ebigambibwa okuba bbomu okubwatuka.

Ekintu ekimu kibwatuukidde okumpi n’omulyango gw’ekitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS ku Kooki Towers, ekirala ku Parliamentary avenue okumpi ne offiisi za Jubilee ku ssaawa nga 4 ez’okumakya.

Emmotoka ezimu zikutte omuliro ku kizimbe kya Jubilee Tower, enguudo ezimu zigaddwawo ebitongole byokwerinda ebirwanyisa obutujju omuli Parliamentary Avenue.

Embeera ebadde ku CPS

Abafunye ebisago ku mitwe, emikono, embutto, amagulu, batwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okutaasa obulamu nga mu kiseera kino ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu Kampala yenna.

Embeera ku mulyango gwa CPS

Wabula omu ku bakyala abasimatuse okufa ku CPS mu Kampala, agamba nti waliwo n’abasirikale.

Omukyala ku mbeera

Ate omukyala omulala abadde akedde ku kitebe kya KCCA okufuna ddoozi ya Covid-19 ey’okubiri, agamba nti ekintu kibwatuse omulundi gumu era Poliisi erabiddwako nga waliwo abantu abali mu mbeera mbi, abatwalibwa mu Kiriniki ya KCCA okuyambibwa mbu nga waliwo n’abafudde.