Omusajja ategerekeseeko erya Juma avudde mu mbeera bw’akutte mukyala we ng’ali mu kaboozi n’omusajja gw’abadde ayita muganda we.
Juma agamba nti wakati mu kulwanyisa Covid-19, yafuna omulimu gw’okusuubula emmere mu byalo n’okusingira ddala mu bitundu bye Masaka.
Agamba mu May, 2021, yakomawo awaka, kwekusanga omusajja mu ddiiro nga yali anywa ccaayi n’omugaati era amangu ddala mukyala we Hamidah yamutegeeza nti omusajja yali muganda we era mbu Muko eyali abakyaliddeko.
Juma wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti omusiguze abadde amuyita Muko kyokka yewunyizza okumusanga mu kaboozi ne mukyala we Hamidah.
Kibadde wa!
Enkya ya leero ku ssaawa nga 2 ez’okumakya, Juma oluvanyuma okutikkula emmere mu katale e Nakasero mu Kampala, yavuze emmotoka okudda awaka e Kkonge, Makindye mu Kampala.
Wabula yabadde alina ekirowoozo okudda e Masaka akawungeezi ka leero ku Lwokusatu, kwe kutwala emmotoka ku saviisi ne ku mazzi era awaka yatuuse ali ku bigere.
Yatuuse awaka, ng’omukozi w’awaka ali ku mirimu ng’ayoza engoye era yatuukidde mu kisenge kyokka amaaso gatuukidde ku mukyala we ng’ali mu kaboozi n’omusajja gw’abadde ayita muko, muganda w’omukyala.
Ng’omusajja omulala yenna, avudde mu mbeera olwa mukyala we okuyingiza omusiguze mu nju ate mu kisenge kye era okulwanagana kutandikiddewo.
Juma alaze nti musajja era ategeera kye bayita okwerwanako era amangu ddala omusiguze amulumyeko okutu kwa ddyo.
Omusiguze, asobodde okufuna omukisa okudduka era afulumye enju nga yenna atonnya musaayi, ali mu mpale yokka, olw’okutya nti omusajja ayinza okumutta, kwekudduka okugenda mu ddwaaliro.
Mu ddakika nga 3 zokka, n’omukyala Hamidah awuliddwako mu nnyumba ng’asaba bba okumusonyiwa wabula Juma abadde munyivu nnyo era amugobye mu nnyumba.
Omukyala avuddeyo mu nnyumba nga yenna ali mu maziga kwe kusaba omu ku batuuze, ategerekeseeko erya Maama Jane, okumukuumira ebintu ku bintu bye.
Wadde omukyala abadde alina emmotoka, bba Juma amulemesezza okugitwala.
Hamidah ayogedde!
Hamidah agamba nti ali mu myaka 35 kyokka omusajja wadde ali mu myaka 40 akyalemeddwa okumufunyisa olubuto era kigambibwa ayinza okuba tazaala.
Agamba nti ng’omukyala omulala yenna anoonya omwana ku nsi, y’emu ku nsonga lwaki yafuna omusajja omulala, okugezaako oba ayinza okufuna olubuto, okuzaala ku mwana.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=dumSm0ULt1A