Omuyimbi David Adedeji Adeleke amanyikiddwa nga Davido okuva mu ggwanga erya Nigeria y’omu ku bantu abasanyufu mu kiseera kino olw’omukwano gw’abawagizi be.
Davido yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okusaba abawagizi be okumusindikira ku ssente bwe kiba nga basanyufu nti asobodde okubayimbira ennyimba ennungi, “If u know I’ve given you a hit song .. send me money”.
Oluvanyuma, Davido asobodde okulaga nti mu ddakika 10 zokka, abadde yakafuna obukadde 7 obwa Naira (($16,000; £12,000).
Davido mu ngeri y’okusaaga, agambye nti yetagaa obukadde 100 obwa Naira okusasula ebbanja ly’emmotoka ye ekika kya Rolls-Royce.
Mu kiseera kino, Davido asemberedde okuweza obukadde 100 obwa Naira.
Davido alina abagoberezi 9,700,000 ku Twitter.





