Abadde akulira ekitongole ky’amakkomera mu ggwanga erya Kenya agobeddwa.
Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa omukulembeze w’eggwanga eryo Uhuru Kenyatta akawungeezi ka leero, essaawa yonna, agenda kulangirira omuntu omulala okudda mu bigere Wycliffe Ogalo.
Ogalo agobeddwa nga wakayita ennaku 2 zokka ng’abatujju basatu (3) abaali bakwatibwa, batolose mu kkomera lye Kamiti mu kibuga Nairobi ku Mmande ya sabiiti eno.
Wabuka Kenyatta, alagidde ebitongole ebikuuma ddembe okweyambisa buli kye balina okuzuula abatujju gye baddukidde, baddemu bakwattibwe.
Abatujju abaatolose kuliko Mohamed Ali Abikar eyakwatibwa ku by’okulumba Garissa University mu 2015 ne batta abantu 148 n’okusingira ddala abayizi era abadde yasibwa emyaka 41.

Abalala kuliko Musharaf Abdalla eyakwattibwa bwe yali agezaako okulumba Palamenti y’eggwanga mu 2012 ne Joseph Juma Odhiambo eyakwattibwa mu 2019 ku nsalo ye Kenya ne Somalia bwe yali amaliridde, okwegata ku kabinja kabatujju aka al-Shabab.
Oluvanyuma lw’okutoloka, Gavumenti yalangiridde 550,000 eza Doola ku muntu yenna, ayinza okubatuusa ku mutujju.
Mungeri y’emu abasirikale musanvu (7) mu kitongole ky’amakkomera bakwattiddwa, ku misango gy’abatujju okutoloka.
Mu kiseera kino Gavumenti erabudde bannansi buli omu okuba mbega wa munne, wabula bannansi bali ku bunkenke kuba abatujju abaatolose, bantu bakyamu nnyo.