Ebitongole ebikuuma ddembe, byongedde amaanyi mu kulwanyisa abatujju mu ggwanga ng’emu ku ngeri y’okunyweza ebyokwerinda.

Abasajja 4, abagambibwa okuba abatujju bakabinja ka Allied Democratic Forces-ADF, battiddwa mu disitulikiti y’e Ntoroko, ekirese abatuuze nga bali mu kutya.

Abattiddwa, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu katawuni k’e Kisenge ku luguudo lwe Fort Portal-Bundibugyo nga mu kiseera kino emirambo, gikuumibwa mu ddwaaliro ekkulu e Fort Portal, okwongera okugyekebejja.

Okusinzira ku esident District Commissioner -RDC we Ntoroko Mesearch Kawamara, abasajja abo, battiddwa ebitongole byokwerinda wakati mu kuwanyisiganya amasasi.

RDC Kawamara, agamba nti abatujju aba ADF baayingira mu ggwanga nga befudde abali mu mbeera mbi ne basimba amakanda mu nkambi za babundabunda mu disitulikiti y’e Ntoroko ne Bundibugyo wabula ebitongole ebikuuma ddembe, ebirwanyisa obutujju mu ggwanga byegasse okubalwanyisa.

Mu sabiiti eno yokka, abantu 25 abagambibwa okuba abatujju ba ADF bebakakwattibwa mu disitulikiti y’e Ntoroko ne Bundibugyo.

Okunoonyereza kulaga nti n’abatujju abaakoze obulumbaganyi mu Kampala ne batta n’okulumya abantu, bakabinja ka ADF nga bakoleramu wamu n’abatujju ba Isis.