Entiisa ebuutikidde abatuuze mu Tawuni Kanso y’e Buwenge mu disitulikiti y’e Jinja, omukyala Shakira Babirye bw’asangiddwa ng’afiiridde mu nnyumba.

Kigambibwa Shakirah yakomyewo ku ssaawa nga 6 ez’ekiro, nga yabadde ne muganzi we mu loogi ya Perwa Guest House mu Tawuni Kanso y’e Buwenge era yagenze okudda awaka nga yenna atamidde.

Wadde mu nju abadde asulamu ne muganda we, obudde webukeeredde nga yafudde dda.

James Mubi omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira – Jinja agamba nti Poliisi eyongedde okunoonyereza okuzuula ekituufu, ekivuddeko okufa era fayiro eguddwawo ku kitebe kya Poliisi e Buwenge.

Mubi agamba nti waliwo obulagajjavu obwakoleddwa ku loogi ya Perwa Guest House nga tebalina kiwandiiko kyonna ku musajja eyabadde ne Shakira mu loogi.

Agamba nti Shakira kati omugenzi yagiddwako ebimukwatako byonna ku loogi kyokka omusajja, yayingidde buyingizi era ku loogi tewali kintu kyonna kimwogerako.

Abamu ku batuuze bagamba nti omusajja ayinza okuba yawadde Shakira obutwa oluvanyuma lw’akaboozi oba omutima gw’afunye obuzibu kuba yabadde atamidde nnyo wakati mu kusinda omukwano.

Wabula Mubi agamba nti Poliisi egenda kunoonyereza okuzuula ekituufu.