Kyaddaki Ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni awadde ezimu ku nsonga lwaki abatujju bakabinja ka ADF bavaayo okwagala okutta Gen Katumba Edward Wamala.
Gen. Katumba yalumbibwa nga 1, June, 2021 abatujju abaali batambulira ku Pikipiki ku luguudo lwe Kisota – Kisaasi mu Kampala ne batta muwala we Brenda Wamala Nantongo, 27 ne ddereeva we Haruna Kayondo.
Wabula Pulezidenti Museveni bw’abadde ayogerako eri eggwanga ekiro kya leero ku Lwomukaaga, awadde ensonga bbiri (2) lwaki abatujju bavaayo okutte Gen. Katumba.
Pulezidenti Museveni agamba nti abatujju baali balowooza nti okutte Gen. Katumba, omusajja munnamaggye ate omukulu mu Gavumenti, kyali kigenda kuluma nnyo Gavumenti n’okusanyalaza emirimu.
Mungeri y’emu agamba nti Gavumenti ya Uganda eri mu ntekateeka okuzimba enguudo mu ggwanga erya Congo ng’abatujju balowooza Gen. Katumba Wamala nga Minisita w’emirimu okulemberamu okuzimba enguudo mu ggwanga lya Congo, bagenda kutataaganya enkambi zaabwe nga zezimu ku nsonga lwaki baalumba okwagala okumutta.
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.