Abakulembeze bavuddeyo ku nsonga y’omuwala agamba nti kitaawe abadde amukozesa okumala ebbanga.
Fatima Usman myaka 21 nga mutuuze mu bitundu bye Owo mu ssaza lye Ondo mu Nigeria, avuddeyo mu kkamera okulumiriza kitaawe.
Fatima agamba nti kitaawe Usman Momoh Sani nga mukozi mu ttendekero erimu ku kitundu, abadde amusobyako.
Mu vidiyo etambuzibwa ku mikutu migatta bantu, Fatima agamba nti buli kiro, kitaawe Usman alina okumukozesa nga singa agezaako okugaana, amugoba mu nnyumba ekiro, “Whenever I refused to have sex with my father he would send me out of the house in the midnight”.
Mungeri y’emu agamba nti Kitaawe abadde amutisatiisa okumutta singa ategezaako omuntu yenna oba okukola amaloboozi mu kusinda omukwano.
Fatima agamba nti wadde kitaawe abadde amukozesa okumala ebbanga, nnyina abadde alowooza alimba.
Mu vidiyo, Fatima yabadde asaba Gavumenti n’ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi okumutaasa ku kitaawe naye akooye embeera.
Omwogezi wa Poliisi mu ssaza lye Ondo Tee-Leo Ikoro agamba nti Poliisi ebadde temanyi ku nsonga ezo wabula okunoonyereza kutandikiddewo.
Abakulembeze ku kyalo, bagamba nti singa kizuulwa nti ddala ssemaka Usman abadde asobya ku muwala we Fatima, balina okumugoba ku kyalo.
Bagamba nti Usman agwanira kkomera obulamu bwe bwonna kuba yasiwuuse empisa.
Vidiyo y’omuwala