Bulooga Isma Olaxes amanyikiddwa jjajja Iculi anoonyezebwa ekitongole ekya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango okwewozaako mu bwangu ddala.
Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekinooyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID, Charles Twine, Isma anoonyezebwa ku misango gy’okusamwasamwa ku nsonga za Bbomu.
Uganda yakubiddwa bbomu mu Kampala sabiiti ewedde ku Lwokubiri nga 16, November, 2021 era abantu musanvu (7) bafiiriddemu omuli abatujju basatu (3).

Wabula Twine agamba nti oluvanyuma lwa Bbomu okutta abantu mu Kampala, Isma yavuddeyo nagamba nti abatujju bandibadde baluumba amasinzizo n’ebifo ebirala okweyongera okukola obutujju.
Twine agamba nti wadde Isma yayitiddwa okwewozaako, yagyemedde ebiragiro.
Alabudde Isma okweddako okweyanjula ku kitebe kyabwe kuba Poliisi CID erina amakubo amalala mangi mwesobola okuyita okumukwata kyokka bakyamulinze.
Abakulu mu Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga abali ku ddiimu ly’okulwanyisa okukusa abantu, nga begatiddwako ekitongole ekya Poliisi, kikutte abantu 33 abasangiddwa nga baliko ennyumba mwe basula mu ngeri ekyatankanibwa.
Abakwate abasangiddwa nga basula mu nnyumba emu mu bitundu bye Naalya mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso, kuliko abalenzi 25 n’abawala 8, wakati w’emyaka 19 kwa 30, ekirese abatuuze nga bebuuza, ekibasuza awamu.
Wabula Agness Igoye amyuka akulira okulwanyisa okukusa abantu mu Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga, agamba nti bakitegeddeko nti waliwo Kampuni emu kwezo etwala abakozi mu nsi z’ebweru, ebadde ebakunganyiza okubatwala wabula okunoonyereza, kutandikiddewo.
Igoye agamba nti n’okuyingira munda mu nnyumba, Poliisi yabuuse ekikomera ekiro ku Lwomukaaga nga abali munda batya okukwattibwa.
Igoye era agamba nti kampuni enoonyezebwa olw’okuteeka abantu mu nnyumba etamanyiddwa Minisitule y’abakozi mu ggwanga n’okusuza abantu ng’ebisolo, ekintu ekimenya amateeka.
Mu kiseera kino abakwate bali ku Poliisi okugibwako sitetimenti era Igoye agamba nti kino kye kiseera okulwanyisa ekitongole oba omuntu yenna ayinza okwenyigira mu kukusa abantu