Abaddu ba Allah ab’ekiwayi kye Kibuli balangiridde Sheikh Muhammad Galabuzi nga Supreme Mufti wa Uganda omuggya.

Sheikh Galabuzi alondeddwa okudda mu bigere bya Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa eyalekulira mu Gwokuna 2021.

Okusinzira ku Sheikh Muhammed Lunaanoba Kawooya, akulira bamasheikh, Sheikh Galabuzi agenda kumyukibwa Sheikh Ibrahim Ntanda ne Sheikh Mahad Kakooza.

Sheikh Ndirangwa yali yalondebwa mu 2015 okudda mu bigere bya Sheikh Zubair Kayongo, eyafa mu Gwokuna, 2015.

Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa

Bwe yali alekulira, yategeeza nti okusika omuguwa okuli e Kibuli, y’emu ku nsonga lwaki yasuulawo tawulo.

Sheikh Ndirangwa yategeeza nti tasobola kusika muguwa na bamusinga nga ku lw’obulungi bw’Obusiraamu, asazeewo adde ebbali abalala batwale mu maaso emirimu gy’obusiraamu n’asiima baakoze nabo ebbanga eryo.

Supreme Mufti Sheikh Galabuzi amanyikiddwa ng’omusajja omusomesa ku by’eddiini ng’alabiddwako emirundi mingi ku Ttiivi, okubangula Abasiraamu ku ddiini.