Palamenti ekutte omuliro akawungeezi ka leero mu kuteesa ku nsonga ya Minisita w’ebyenjigiriza era kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino Janet Kataaha Museveni okuyita, Palamenti olunnaku olw’enkya mu kisaawe e Kololo, okubategeeza ku ntekateeka ya Gavumenti ku ky’abaana okudda ku massomero omwaka ogujja ogwa 2022.

Wakati mu kulwanyisa Covid-19, Minisita Kataaha yabadde ayise Palamenti olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu nga 24 wamu n’abakulu, mu Minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo.

Wabula mu Palamenti akawungeezi ka leero ebadde ekubirizibwa sipiika Jacob Oulanyah, abakiise okuva ku ludda oluvuganya bakisimbidde ekkuuli ekya Minisita okubayita e Kololo ku kye bayise ejjoogo lya Minisita n’okuyisaamu Palamenti amaaso.

Omubaka we Kalungu West, Joseph Gonzaga Ssewungu agambye nti Minisita Kataaha asukkiridde okwegulumiza n’okuzannyira mu nsimbi za Gavumenti.

Ssewungu agamba nti Minisita Kataaha okubatwala e Kololo, bagenda kusasaanya Biriyoni esukka mw’emu mu kutekateeka omukolo gwonna, ezandibadde zeyambisibwa okuyamba amassomero mu kiseera kino.

Ssewungu
Minisita Muyingo

Wabula Minisita omubeezi ow’amatendekero aga waggulu John Chrysestom Muyingo, asambaze ebyogedde Ssewungu nti olunnaku olw’enkya, entekateeka yakuwementa Biriyoni esukka mw’emu (1).

Minisita Muyingo agambye nti ebyo bya bulimba.

Muyingo
MP Nsereko

Ate Omubaka wa Kampala Central, Muhammad Nsereko agamba nti Minisita Kataaha, asobola okweyambisa omutimbagano okulambika Palamenti okusinga okubatwala e Kololo.

Nsereko agamba nti Minisita Kataaha, Palamenti emwataaga okwanukula ku nsonga z’ebyenjigiriza wabula asukkiridde okwebulankanya.

Nsereko

Wabula omubaka w’ekibuga Mukono Betty Nambooze Bakireke, agamba nti ye nga ssentebe w’akakiiko akalondoola ebisuubizo bya Gavumenti, Minisita Kataaha asukkiridde okwebuzabuza.

Nambooze agamba nti Minisita Kataaha yagaana okulinnya mu kakiiko kaabwe, kwe kusaba Sipiika Oulanyah amukkirize, okusindika Poliisi okumukwata.

Agamba nti okuba ssentebe w’akakiiko, obuyinza bwe, bwenkanankana n’omulamuzi wa kkooti enkulu.

Nambooze 1

Mungeri y’emu agambye nti Kataaha Museveni alemeddwa okwawula obuyinza wakati wa Minisita w’ebyenjigiriza n’okuba Kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni nga y’emu ku nsonga lwaki asukkiridde obuyinza, okulagira Palamenti, okubatwala e Kololo.

Nambooze 2
Sipiika Oulanyah

Wabula Sipiika Oulanyah mu kufundikira ensonga eyo, agambye nti si kyabuwaze okugenda e Kololo, wadde bonna bayitiddwa.

Oulanyah

Webuzibidde akawungeezi ka leero, nga Minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo esobodde okweyambisa omukutu ogwa ‘Twitter’, okutegeeza nti olukungana lw’enkya, luyimiriziddwa wabula tewali nsonga yonna eweereddwa.