Abasajja okudduka oluvanyuma lw’okutikka abaana abawala embutto, y’emu ku nsonga lwaki bangi ku bo bakemebwa, okudda mu kwetunda, ng’emu ku ngeri y’okunoonya ensimbi okwebezaawo.

Omu ku bawala ategerekeseeko erya Brenda ali mu gy’obukulu 17 nga mutuuze we Makindye mu Kampala, agamba nti omusajja yamulimbalimba ku myaka 15, kyokka oluvanyuma lw’okumuzaalamu, yamusuulawo.

Brenda, agamba nti omusajja Bosco Walusimbi yali avuga bodaboda kyokka olw’okunoonya ensimbi okwebezaawo ssaako n’omwana we, mikwano gye, gyamuwa amagezi okutandika okwetunda, okunoonya ensimbi ezamangu.

Mu kiseera kino, Brenda ku myaka 17, afuna abasajja 3-4 buli kiro, nga yetuunda wakati shs 3,000 – 5,000.

Agamba nti newankubadde ssente ziyingira, bangi ku basajja tebagala kwambala bupiira, ekiyinza okumusiiga obulwadde.

Brenda agamba nti wadde alina abazadde, oluvanyuma lw’okufuna olubuto, abazadde bamukoowa era yavaayo ng’akooye okuyomba.

Mungeri y’emu agamba nti yaddukidde ku Poliisi okuyambibwa olw’omusajja okugaana okulabirira omwana kuba embeera embi nga kizibu nnyo omusajja okuwa shs 10,000 olw’akaboozi.

Ate omuwala omulala ategerekeseeko erya Nakiwala nga naye asamba gwa nsimbi e Makindye mu Kampala myaka 18, agamba nti okuggala amassomero mu March, 2020 wakati mu kulwanyisa Covid-19 mu ggwanga, y’emu ku nsonga lwaki, yatandika okwetunda.

Nakiwala agamba nti wadde mulwadde wa siriimu, tayinza kutegeeza ku basajja yenna kuba yetaaga ensimbi, okwerabirira omuli okulya n’okusigala ng’alabika bulungi.

Agamba yazaalibwa nga mulwadde wa siriimu era abazadde bombi kati z’embuyaga ezikunta nga mu kiseera kino alina okunoonya ssente mu mbeera yonna.

Nakiwala agamba akoze emirimu egy’enjawulo omuli okuwereza abantu emmere mu Kampala, okutunda ccaayi nga byonna temuvaamu kalungi mu kiseera kino eky’omuggalo.

Mungeri y’emu agamba nti omusajja yenna okumutwala okwerigomba, alina okusasula ssente wakati wa shs 15,000 – 30,000 era olunnaku asobola okufuna abasajja 2-3.

Wadde abadde musanyufu, Nakiwala alemeddeko nti wadde ye mulwadde wa siriimu era ali ku ddagala, ye anoonya ssente era singa afuna omusajja nga tayagala kweyambisa Kondomu, talina buzibu kuba ye ayagala ssente.

Mu kiseera kino agamba yakebaka n’ abasajja abasukka mu 100 nga tebakkiriza kwambala kondomu ng’abamu bafumbo era asuubira bangi balwadde.

Nakiwala

Nakiwala alabudde abasajja nti wadde banoonya essanyu, balina okwagala obulamu bwabwe, nga sikirungi okukkiriza okwebaka ne malaaya nga toyambadde kuba endwadde z’obukaba zeyongedde. Wadde afunye abasajja abasukka mu 100, agamba nti alina kasitoma we Nsereko, wadde musajja mufumbo e Katwe, okuva lwe yazuula nti naye mulwadde wa siriimu, buli wiiki, alina okumukibira essimu okwesanyusa era ye amuwa ssente wakati shs 40,000 – 50,000.