Omuyimbi munnansi wa Tanzania Diamond Platnumz azzeemu okutabula Zari Hassan ne Tanasha Donna era agava mu ggwanga erya Kenya ne South Africa, ebigambo bizzeemu wakati waabwe.

Zari yazaalira Platnumz abaana babiri (2) ate Tanasha yazaala omwana omu (1) wabula kigambibwa bonna Platnumz yabasuulawo.
Bonna bagamba nti omusajja yali asukkiridde obwenzi ng’ayinza n’okuleeta ebirwadde.

Wabula ng’omukyala omulala yenna omukulu mu myaka, Zari yasalawo okuddamu okusembeza Platnumz okuddamu okutambuza obulamu nga mukwano gwe n’okulabirira abaana baabwe kuba betaaga omukwano gw’abazadde.

Famire mu mirembe

Agava mu ggwanga erya Tanzania ne South Africa, galaga nti wadde Zari yeerimbika nti Platnumz amutwala nga mukwano gwe, okusobola okukuza abaana, alimba bali mu laavu era mbu balabiddwako emirundi mingi nga bali bombi benywegera.

Nga bali mu ssanyu wakati mu laavu

Zari okuddamu okwagala Platnumz, kabonero akalaga nti wadde yali amusuddewo olw’obwenzi, alemeddwa okuddamu okufuna omusajja omutuufu, okusanyusa obulamu bwe.

Oluvanyuma lwa Zari okufuna obutakaanya ne Platnumz, ng’omusajja omulala yenna ng’akyali muvubuka ne Platnumz yasalawo okuzaala mu Tanasha omwana.
Tanasha nga munnansi wa Kenya, mu kiseera kino y’omu ku bayimbi abakyala abakola obulungi mu Kenya.
Platnumz, yakola nnyo okuyamba Tanasha okuyimusa talenti ye mu kuyimba.
Agava e Kenya, galaga nti Tanasha munyivu nnyo olwa Platnumz okumusuulirira wadde balina obutakaanya.

Tanasha

Tanasha bwe yabadde ayogerako ne munnamawulire okuva ku mukutu ogumu mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi, yagambye nti ye Platnumz buli omu kati akola bibye.
Agamba nti n’empuliziganya ntono nnyo wadde alina omwana we.
Bwe yabuuziddwa oba naye alina omukisa okuba ne Platnumz okuddamu okukuza omwana nga Zari bw’akikola, yagambye nti, “NO, NO NO NO”.

Tanasha alina work

Mu kiseera kino Zari musanyufu nnyo kuba kati omusajja amulina wadde agamba nti eby’okugenda mu kisenge babivaako dda ate Tanasha y’omu ku bakyala abanyivu mu kiseera kino kuba buli lunnaku, omusajja gwe yali afunye, bamutwala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=2_3hFKHbJFM&t=20s