Kyaddaki Pasita Aloysious Bugingo owa owa House of Prayer Ministries ayanjuddwa mu bazadde b’omukyala Suzan Makula olwaleero.
Omukolo gubadde mu maka g’abazadde ba Makula e Kyebando mu Kampala wakati mu byokwerinda.

Ekifo kyonna kibadde kyetooloddwa Poliisi n’amaggye era kigambibwa Makula yasabye bba okuyambako ku nsonga y’ebyokwerinda, okutangira omuntu yenna ayinza okutabangula omukolo gwabwe.

Wabaddewo okutya nti eyali mukyala wa Pasita Bugingo, Teddy Naluswa ayinza okutabangula omukolo era y’emu ku nsonga lwaki ebyokwerinda bibadde gulugulu.
Omukolo, Pasita Bugingo alaze nti ddala musajja alina ssente kuba buli kimu ekikozeseddwa nga kiri ku mutindo.

Kigambibwa, omukolo gwetabiddwako abantu batono nnyo n’okusingira ddala aba famire.

Kinajjukirwa nti ensonga za Bugingo ne Mukaziwe ziri mu mbuga za mateeka era nga Bugingo yasaba omulamuzi abagattulule nga asinziira ku nsonga ze yatekayo zagamba nti takyasobola kubeera mu bufumbo ne Naluswa.