Gavumenti erabudde nti abasuubuzi bonna abatali bageme, omwaka ogujja ogwa 2022 mu Janwali, tebajja kukkirizibwa, kutambuza mirimu gyabwe mu Kampala.

Okusinzira ku minisita omubeezi owa Kampala n’emirirwano Kabuye Kyofatogabye, bangi ku basuubuzi bakyagaanye okubagema nga bekwasa obusongasonga, nga ye ssaawa abakulembeze mu Kampala, okwenyigiramu, okulaba nga bataasa abo, abagemeddwa.

Minisita bw’abadde ayogerako eri abasuubuzi mu Kikuubo mu Kampala akawungeezi ka leero, asobodde okweyambisa oluzungu n’oluganda buli musuubuzi, okutegeera obulungi ensonga ye.

Alabudde nti mu Janwali, 2022, abasuubuzi mu Kampala, okubakkiriza okutambuza emirimu gyabwe, buli omu alina okutambula n’ekiraga, nti yagemeddwa Covid-19.

Minisita Kyofatogabye mu kulambula abasuubuzi mu Kampala abadde awerekeddwako Nankulu w’ekibuga Kampala Dorothy Kisaka ne Meeya wa Kampala Central Salim Uhuru.

Dorothy Kisaka ne Minisita Kyofatogabye

Agamba nti wadde abasuubuzi balina eddembe lyabwe ku nsonga y’okugemebwa, omusuubuzi yenna nga si mugeme, alina okusigala awaka, okusobola okutaasa abalala okulwala.

Eddoboozi lya Minisita

Ate Kisaka bw’akutte akazindaalo, awanjagidde abasuubuzi mu Kampala okuyambagana mu kulwanyisa obuli bw’enguzi mu bakozi b’ekitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA).

Kisaka akitegeddeko nti waliwo abakozi mu KCCA abasukkiridde okulya enguzi, okuwa omukisa abatembeyi okusigala nga batundira ku nguudo.

Agamba, kati ye ssaawa okuyambagana, okutereeza entambuza y’emirimu Kampala.

Kisakka ku Nguzi