Omusajja ali mu myaka 35 aswadde olw’okusangibwa ng’ali mu kaboozi n’omuwala ali mu myaka 26 mu mmotoka e Mawale ku luguudo oluva e Kampala okudda e Semuto.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, omusajja eyabadde avuga emmotoka ekika Noah, yapakinze ebbali w’ekkubo okuva ku ssaawa nga 2 ez’ekiro.
Wabula abatuuze bagamba nti ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, baafunye okutya nga kivudde ku mmotoka okupakinga mu kifo ekimu, okusukka essaawa emu (1).
Abatuuze nga bakulembeddwamu Kityo Ivan, bagamba nti emmotoka yabadde yenyeenya nga balowooza waliwo omuntu attibwa.
Nga batuuse ku mmotoka, omusajja yabadde ali mu kaboozi n’omuwala nga bali mu ntebe z’emabega.
Omusajja yabadde aggyeemu empale yonna yokka ng’omuwala asigadde mu kaleega wabula olw’okutya, yasabye abatuuze okumusonyiwa kuba yabadde talina ssente za loogi.
Kityo agamba nti omusajja n’omuwala, tebamanyikiddwa ku kitundu era amangu ddala omusajja yawadde abatuuze ssente shs 20,000 okumusonyiwa.
Omuwala olw’okutya, yabadde ffeesi agibise engoye ze era amangu ddala, omusajja wakati mu kutya, yasimbudde emmotoka ne bagenda nga badda e Semuto.
Abatuuze bagamba nti kiswaza omusajja omukulu, okudda ku kkubo n’omuwala omuto, ekivuddeko endwadde okweyongera.
Ate Malaaya atabudde abasajja nga bali mu bbaala, ekivuddeko omusajja omu okuttibwa mu disitulikiti y’e Buyende.
Adiso Madigo myaka 30 abadde omutuuze we Kalwaala mu ggombolola y’e Nkondo, yattiddwa.
Wadde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalagira ebbala okusigala nga nzigale wakati mu kulwanyisa Covid-19, Madigo okuttibwa, kivudde ku butakaanya nga bali mu bbaala mu kiro ekikeseeza olwaleero.
Okusinzira kw’omu ku bakozi mu bbaala agaanye okwatuukiriza amannya ge, abasajja babiri (2) omuli omugenzi Madigo ne Ben Gidonyi, baaguze Malaaya nga buli omu, yamuwadde ssente shs 5000.
Nga bakyali mu bbaala, Malaaya ali mu gy’obukulu 24 yabadde abakyanga bombi nga bonna bamunywegera wakati mu kunywa omwenge.
Wabula Gidonyi bwe yabadde agezaako okutwala Malaaya, Madigo kati omugenzi yavuddeyo okumulemesa kuba naye, yabadde amaze okuwaayo akasente ke nga yesuunze okumulambuza ebyalo, okumutuusa mu kibuga Kandahar ekya Afghanistan.
Okusika omuguwa, kyavuddeko okulwanagana, ekyembi Madigo yasindikiddwa ku ttaka era omutwe gwatuukidde ku mayinja.
Lovisa Namwase, omu ku batuuze agamba nti Madigo yafudde, bakamutuusa mu ddwaaliro nga yenna atonnya musaayi ate Gidonyi olw’okutya, yeetutte ku kitebe kya Poliisi e Buyende ku misango gy’okutta omuntu. Wabula Michael Kasadha, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.