Poliisi mu kibuga kye Jinja ekutte Pasita amanyikiddwa nga Prophet Joseph Serubiri owa Deliverance and Healing Ministries Kakira ne mukyala we Felister Namaganda ku misango gy’okutta omwana omuwala myaka 4.

Omwana yabula mu September, 2021 era kigambibwa yasaddakibwa pasita Serubiri ne mukyala we Namaganda.

Omugenzi ye Nakisuyi Trinity Zabella, eyali muwala wa John Mulodi, omutuuze we Kakira Market Zone, mu Tawuni Kanso y’e Kakira.

Omwana yabula nga 30, September, 2021 era omusango gubadde ku kitebe kya Poliisi e Kakira ku nnamba 49/01/10/2021 era okuva olwo, omwana abadde anoonyezebwa.

Poliisi egamba nti yasobodde okulondoola essimu za Pasita ne mukyala we era y’emu ku nsonga lwaki bakwattiddwa.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira – Jinja agamba nti ku Poliisi, Pasita Serubiri n’omukyala Namaganda bakkiriza okutta omwana mu kkanisa mmunda okusobola okufuna amaanyi okuwonya abantu mu kkanisa n’okufuna abagoberezi.

Mubi agamba nti wadde bakwattiddwa, okunoonyereza okuzuula ebisangawo, kukyagenda mu maaso.

Ate Poliisi y’e Arua ekutte omuwala myaka 23 ku misango gy’okutta omwana we gw’abadde yakazaala.

Faidah Munduru nga mutuuze we Chongoliya Cell ku luguudo lwe Arua-Nebbi mu kibuga Arua yakwattiddwa.

Faidah yakwattiddwa akawungeezi k’Olwokutaano era yatwaliddwa ku kitebe kya Poliisi Arua ab’oluganda lwe oluvanyuma lw’okubanja omwana omuwala nga talabikako gw’abadde yakazaala mu nnaku bbiri (2) zokka.

Ab’oluganda bagamba nti Faidah oluvanyuma lw’okuzaala, abadde talina mwana, kwe kumutwala ku Poliisi abitebye.

Ku Poliisi, Faidah agamba nti olwa bba okugaana okulabirira abaana, y’emu ku nsonga lwaki yabadde alina okutta omwana oluvanyuma lw’okuzaalibwa.

Jimmy Anguyo, akulira offiisi y’amaka n’abaana mu bitundu bye West Nile agamba nti Faidah wakutwalibwa mu kkooti oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Ate aba famire basabye Poliisi Faidah avunaanibwe emisango gy’obutemu oluvanyuma lw’okutta omwana.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=zFZxI1Ea28g