Kyaddaki omusirikale munnansi we Ghana General Lance Corporal Victor Antwi Yeboah akkiriziddwa okweyimirirwa oluvanyuma lw’okukwatibwa ku misango gy’okutigatiga omuwala mu mmotoka.
Kigambibwa ku Lwokutaano nga 26, November, 2021, Yeboah yabadde ne banne babiri (2) nga bali kulawuna ekyalo kye Fiapre okumpi ne Yunivasite ‘University of Energy and Natural Resources (UENR) mu kiro, kwe kusanga emmotoka eyabadde epakinze ebbali w’ekkubo.
Emmotoka ekika kya Toyoto Corolla yali mita ntono ku luguudo oludda ku Berlin-Top nga mulimu amataala.
Yeboah agamba nti mu mmotoka mwalimu omuwala ng’ali mu kaboozi n’omusajja mu mmotoka mu ntebe y’omu maaso.
Yeboah yayingira mmunda okwekebejja emmotoka era yatandiika okutigatiga omuwala, okumukwatirira ku bisambi, n’okwagala okuyingiza engalo mu bitundu by’ekyama nga bw’awoza ‘oli bwereere lwaki”.

Wadde omuwala yali awoganira waggulu nti ki ky’okola, omusirikale yali alemeddeko.
Oluvanyuma Omuwala n’omulenzi baakwatibwa ne batwalibwa ku Poliisi y’e Sunyani Municipal Police Station ku misango gy’okukola ebikolwa by’abakulu mu kifo ekikyamu kyokka oluvanyuma baayimbulwa nga Poliisi bw’enoonyereza.
Wabula ku Lwomukaaga nga 27, November, 2021 ku ssaawa 8 ez’emisana, addumira Poliisi mu kitundu ekyo yalaba vidiyo nga Lance CpL Yeboah ng’atigatiga omuwala era amangu ddala yalagira Yeboah okukwattibwa.
Bwe yasimbiddwa mu kkooti mu maaso g’omulamuzi Eric Daning, yegaanye emisango gyonna era yakkiriziddwa okweyimirirwa ku misango gy’okutigatiga omuwala ku GH¢ 10,000 ez’obuliwo.
Vidiyo
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=zFZxI1Ea28g