Poliisi y’e Buyala mu disitulikiti y’e Jinja, ekutte omusajja ku misango gy’okwagala okutta mukyala we.

Muhammad Ikesi myaka 30 yakwattiddwa nga yakutte amazzi agookya nayiira mukyala we Rachael Nabirye myaka 26.

Amazzi agaavudde ku sigiri, gatuukidde ku bisambi, ebitundu by’ekyama ssaako n’omutwe.

Okusinzira ku Nabirye, baludde nga balina obutakaanya, nga bba Ikesi, amulumiriza nti yamusanga n’omusajja mu loogi era mbu yegumbulidde okukyanga abasajja.

Omukyala Nabirye

Nabirye mu kiseera kino ali mu kalwaliro ka Ebenezer mu katawuni k’e Buyala era essaawa yonna wakusiindikibwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja.

Wabula Nnyina ng’asangiddwa mu ddwaaliro, asambaze ebyogerwa omusajja, nti muwala we abadde alina abasajja abenjawulo era mbu yamukwata ng’ali mu loogi.

Agamba nti muwala we, yakubiddwa nnyo nga balina okunoonya obwenkanya.

Omukwate Ikesi

Ate Omukwate Ikesi agamba nti omwezi oguwedde ogwa November, yakwata mukyala we nga bayingira mu loogi, ekyayongera okusajjula embeera.

Ikesi agamba nti mukyala we, bawangadde emyaka musanvu (7), wabula emyaka 4 egisembyeyo, omukyala abadde ayongedde okukyusa.

Agamba nti omukyala ku myaka 26, abadde yeerimbika mu kusaba, okutambuza obwenzi.

Omusajja Ikesi
James Mubi

Ku nsonga ezo, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira – Jinja, James Mubi avumiridde ekya Ikesi okwagala okutta mukyala we.

Mubi agamba nti bo nga Poliisi, okunoonyereza kutandiise era essaawa yonna, Ikesi wakutwalibwa mu mbuga z’amateeka.