Ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku misango mu ggwanga ekya Crime Investigation Department (CID) kitandise okunoonyereza ku kivuddeko omuwala Namutebi Joana okufa.

Charles Twine, omwogezi w’ekitongole ekyo, agamba nti Namutebi yakubiddwa embaga ku Lwokutaano nga 10, December, 2021 mu Kampala era okusembeza abagenyi kwabadde ku Sheraton Hotel mu Kampala.

Oluvanyuma lw’okusembeza abagenyi, Namutebi ne bba Wabwire Derrick  baali bafunye ekifo ku Sheraton okuwumulira mu kiro wabula olw’okutangira olubuto okumutawanya ng’ali ku mbaga, Namutebi yali asiibye ennaku bbiri (2) ku Lwokusatu ne ku Lwokuna kyokka yali ali mu nsonga z’ekikyala.

Twine ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru enkya ya leero, agamba nti enkeera ku Lwomukaaga nga 11, December, 2021, Namutebi ne bba baali balina okugenda okufuna akaseera okwesanyusa akayitibwa ‘Honeymoon’, mu kifo ekitamanyiddwa mu kiseera kino.

Twine

Namutebi ne bba Wabwire bakaanya okugenda mu ddwaaliro erikola ku nsonga z’abakyala erya Women’s Hospital International e Bukoto, okufuna enkola y’ekizaalaggumba okwetangira okufuna olubuto.

Wabula Twine agamba nti oluvanyuma lw’abasawo okuli Racheal ne Ezira okwekebejja Namutebi ku Lwomukaaga, bakizuula nti Nnabbaana teyali mu mbeera nnungi.

Abasawo bakaanya okuwa Namutebi amazzi, kyokka oluvanyuma lw’okunywa amazzi okuzza Nnabbaana mu kifo ekituufu, Dr. Racheal yasalawo okuteeka akaweta mu nnabbaana ya Namutebi.

Nga wayise eddakika ntono ddala, Namutebi yatandiika okulumwa omutwe, okulumwa olubuto, okusesema okutuusa lwe yazirika.

Twine agamba nti okunoonyereza kulaga nti omukyala yenna ng’ali mu nsonga, talina kuteekebwamu kaweta era balina okunoonyereza lwaki Dr. Racheal yakikoze.

Namutebi embeera yayongedde okwonooneka era bba Wabwire kwe kumutwala mu ddwaaliro lya Victoria mu Kampala, okutaasa obulamu.

Twine agamba nti Namutebi yafudde enkya ya leero era ekituufu ekyavuddeko okufa kwe, tekimanyiddwa mu kiseera kino.

Agamba nti okunoonyereza okuzuula ekituufu kutandikiddewo, kwe kulabula abakyala n’abawala, okwebuuza ku basawo nga tebannaba kweyambisa nkola yonna okwetangira okufuna embutto.

Namutebi okutya okufuna olubuto nga bageenze ku ‘Honeymoon’, y’emu ku nsonga lwaki yaddukidde mu ddwaaliro okufuna akaweta.