Ekiyongobero kisanikidde abatuuze ku kyalo Bulecha mu ggoombolola y’e Masinya mu disitulikiti y’e Busia, ssemaka bw’asse mukyala we nga kivudde ku nsonga z’okwegatta.

David Oguttu, aliira ku nsiko mu kiseera kino anoonyezebwa ku by’okutta mukyala we Christine Auma myaka 29.

Kigambibwa Auma ne bba baludde nga balina obutakaanya ng’omukyala alumiriza bba obwenzi, ekiyinza okuleeta ebirwadde wakati waabwe.

Omukyala yali yanoba wabula Oguttu, yasobodde okwetonda omukyala okudda awaka kyokka mu kiro, kigambibwa Oguttu yalemeddeko ku nsonga z’okwegata, omukyala kye yagaanye nga tali mu mbeera nnungi.

Oguttu yavudde mu mbeera era mu kiro ng’omukyala azzeemu okwebaka, yakutte ejjambiya, natematema omukyala okutuusa lwe yafudde.

Okusinzira ku Domiano Wabwire, akulira ebyokwerinda ku kyalo, Oguttu oluvanyuma lw’okutta omukyala, Omulambo yagusibidde mu nnyumba.

Wabwire agamba nti, abatuuze okumenya oluggi, amaaso gatuukidde ku mulambo wakati mu kitaba ky’omusaayi nga ne jjambiya, nga yonna ejjudde omusaayi.

Wabula akulira ekitongole ekinoonyereza ku misango ku kitebe kya Poliisi e Busia Timothy Pido, agamba nti omukyala yatemeddwa ku mutwe n’obulago era omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Masafu okwekebejjebwa.

Pido agamba nti Poliisi etandikiddewo okunoonyereza.

Ate Polisii etubuulidde wetuuse ku misango egivunaanibwa Kansala wa LC 5 mu ggoombolola y’e Kalungu mu disitulikiti y’e Kalungu Charles Mutebi, ali ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Mutebi, akola ng’omuwandiisi ku nsonga z’ebyobulamu n’ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Kalungu, kigambibwa yasobya ku mwana ali mu gy’obukulu 14.

Nga 30, Ogwomwenda, 2021 ku kyalo Kaliiro, mu ggoombolola y’e Kalungu, Mutebi yasobya ku mwana bwe yamulimbalimba namutuma mu nnyumba, okukima Konteyina, okumugulira ku mmere.

Omwana agamba nti Mutebi yaliko omusomesa we ng’akyali mu kibiina eky’okutaano.

Eddoboozi ly’omwana

Ku nsonga ezo, Muhammad Nsubuga omwogezi wa Poliisi mu Bendobendo lye Masaka, agamba nti fayiro ya Mutebi, yasindikiddwa mu kitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku misango, okunoonyereza ebisingawo.

Nsubuga agamba nti Mutebi aliira ku nsiko nga y’emu ku nsonga lwaki fayiro ye, esindikiddwa mu CID, okumunoonya akwattibwe.