Kyaddaki minisitule y’ebyenjigiriza efulumizza entekateeka y’abayizi okudda ku massomero, omwaka ogujja ogwa 2022.

Ku ntekateeka efulumiziddwa, kikakasiddwa abayizi bakudda ku massomero nga 10, Janwali, 2022.

Bw’abadde aggalawo entekateeka y’okubagula bannabyanjigiriza ku ky’okuzza abayizi ku massomero ku kisaawe e Kololo enkya ya leero, kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino era Minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataaha Museveni agamba nti balina okwetangira Covid-19 wakati mu kuzza abayizi ku massomero.

Kataaha e Kololo

Kataaha agamba nti, “abayizi abaali mu Ssiniya esooka ne Ssiniya ey’okubiri mu mwaka 2020 bakuyita bagende mu Ssiniya ey’okubiri n’eyokusatu. Wategekeddwawo okuyigirizibwa okw’enjawulo eri abayizi bano mu mwaka 2022 okusobola okuyunga wadde abamu babadde basomera awaka. P.1, P.2, and P.3 ab’omwaka 2020 bajja kudda ku ssomero mu bibiina byabwe  P.2, P.3, ne P.4.  Abayizi bakuteekerwawo okuyiga okw’enjawulo mu ttaamu esooka eya 2022 okubayamba okugattawo ku bikulu byebalina okusoma mu bibiina mwebaali.

Ekibadde e Kololo

Minisita w’ebyenjigiriza, Janet Museveni agamba nti amasomero wegaggalirawo mu muggalo ogw’okubiri mu June 2021, abayizi mu P.4, P.5 ne P.6 baali bamaze amasomo gabwe nga bagenze bibiina ebiddako okuli  P.5, P.6, ne P.7.

Okusinzira ku Kalenda efulumiziddwa akawungeezi ka leero

Ttaamu esooka okuva ku Mmande nga 16, January, 2022 okutuusa ku Lwokutaano nga 15, April, 2022.

Ttaamu eyokubiri okuva ku Mmande nga 9, May, 2022 okutuusa ku Lwokutaano nga 12, August, 2022.

Ttaamu eyokusatu, okuva nga 5, September, 2022 okutuusa ku Lwokutaano nga 9, December, 2021.

Ttaamu esooka abayizi balina okuwumula okuva ku Lwomukaaga nga 16, April, 2022 okutuusa ku Ssande nga 8, May, 2022 okumala wiiki 3, Ttaamu eyokubiri okuva ku Lwomukaaga nga 13, August, 2022 okutuusa ku Ssande nga 4, September, 2022 okumala wiiki 3 ate ttaamu ey’okusatu, abayizi okuwumula okuva ku Ssande nga 10, December, 2022 okutuusa nga 29, January, 2023 okumala wiiki 7.

Kalenda y’okudda ku massomero