Poliisi, etandiise okunoonyereza ku abatuuze abatwalidde amateeka mu ngalo ne batta ab’oluganda babiri (2) ku kyalo Mbilizi mu ggoombolola y’e Baitambogwe mu disitulikiti y’e Mayuge.
Abattiddwa kuliko Bakali Kiwelele myaka 24 ne mukulu we Hassan Kiwelele myaka 28.
Okusinzira ku Ayub Buyinza, akulira ebyokwerinda ku kyalo, ababbi balumbye ekyalo ku Lwokubiri ku makya ng’abatuuze bagenze mu nimiro ne banyaga amaka agasukka 15 ebintu omuli engoye, emifaliso, emmeeze, amasowaani n’ebintu ebirala.
Amangu ddala abatuuze bakaanyiza okuyita olukiiko lw’ekyalo era ne bakaanya okwekebejja buli nju ya mutuuze, okuzuula ebintu, ebyabiddwa.
Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, mu kwekebejja amaka, abatuuze bazudde ebintu ebyabiddwa nga bikwekeddwa ewa Bakali ne Hassan, ekyayongedde okunyiza abatuuze.
Abatuuze baavudde mu mbeera era Hassan ne Bakali, bakubiddwa abatuuze buli omu kye yabadde akutte, okutuusa okufa.
Oluvanyuma lw’okuttibwa, abatuuze baazudde ebimu ku bintu ebyabiddwa mu bikajjo ne Kabuyonjo nga bikwekeddwa.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East Diana Nandawula, agamba nti emirambo gyasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mayuge okwekebejjebwa nga ne Poliisi bw’enoonya, abenyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo.
Ate ekiyongobero kibuutikidde abatuuze mu kibuga kye Mbale, emmotoka y’amaggye ga UPDF namba BO3BF099 bw’esse maama n’omwana we myezi 9.
Akabenje kabadde ku nkuluungo ya Sleeping Baby era omukyala attiddwa ye Gladys Nambuya myaka 42 n’omwana ategerekeseeko erya Maria nga bonna batuuze mu kibuga kye Mbale.
Okusinzira ku batuuze, maama n’omwana babadde ku bodaboda ne bagwa nga Pikipiki edduka, ng’emmotoka y’amaggye etuuse nebalinya.
Emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mbale okwekebejjebwa kyokka owa Bodaboda asobodde okuduuka.
Wabula omwogezi w’amaggye ow’ekibiina eky’okusatu Captain Edrin Mawanda, ayogeddeko naffe era agambye nti ddereeva waabwe abadde avuga emmotoka akwattiddwa okuyambako mu kunoonyereza.
Ate Rogers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon agambye nti Poliisi eguddewo omusango ku fayiro namba 403/2021, okuyambako mu kunoonyereza ekivuddeko akabenje.
Taitika mungeri y’emu asabye abatuuze okukuuma empisa nga bali ku nguudo mu kiseera kino ekye nnaku enkulu.