Poliisi n’amaggye, bayongedde ebyokwerinda mu disitulikiti y’e Kayunga okutangira embeera yonna eyinza okusajjuka.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu kitundu ekyo, Felix Mugizi, bafunye amawulire nti abawagizi b’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), bategese okwekalakaasa nga bawakanya eky’omuntu waabwe Harriet Nakweede okuwangulwa nga ssentebe wa LC 5 mu disitulikiti y’e Kayunga, ekiwadde bannakibiina ki National Resistance Movement (NRM) essanyu ssaako n’okusagambiza.

Okusinzira ku birangiriddwa akulira eby’okulonda mu disitulikiti y’e Kayunga Jennifer Kyobutungi enkya ya leero, Andrew Muwonge owa NRM, awangudde okulonda.

Muwonge afunye obululu 31,830 ate Nakweede, amalidde mu kyakubiri ng’afunye obululu 31,380 era awanguddwa, n’enjawulo ya bululu 450.

Muwonge owa NRM

Akalulu kabaddemu abantu mukaaga (6) era Majid Nyanzi amalidde mu kyakusatu (3) n’obululu 1,297, Musisi Boniface Bandikubi 470, Jamilu Kamoga, 279 ate Anthony Wadimba owa Democratic Party (DP) akutte kya mukaaga n’obululu 158.

Kyobutungi, asobodde okweyambisa obuyinza bwe, ng’akulira eby’okulonda mu disitulikiti y’e Kayunga, okulangirira Muwonge nga ssentebe omuggya alondeddwa okudda mu bigere bye Muhammad Ffeffekka Serubogo, eyafa gye buvuddeko.

Wabula bannakibiina ki NUP, balemeddeko nga bagamba nti Nakweede yawangudde okulonda, ne banyusa ebyavudde mu kulonda mu ngeri y’okuggyawo amaanyi g’abantu.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi w’ekibiina ki NUP Wasswa Mufumbiro, Nakweede yawangudde okulonda wabula okukyusa ensalawo y’abantu, kigendereddwamu okugyawo enkola ya Dimokulasiya n’okunyiiza abantu.

Eddoboozi lya Mufumbiro

Wadde aba NUP balemeddeko nga bagamba nti baawangudde okulonda, Ssaabakunzi w’ekibiina ki NRM, Rosemary Seninde asambaze ebyogerwa nti NRM yenyigidde mu kubba akalulu.

Sseninde ajjukiza aba NUP nti buli kulonda, kubaako omuwanguzi n’abo abawanguddwa.

Eddoboozi lya Sseninde

Muwonge oluvanyuma lw’okulangirirwa, agambye nti kati ye ssaawa okutambuza emirimu, Kayunga okudda ku maapu, okwenyigira mu kulwanyisa ensonga ezinyigiriza abalonzi.

Mungeri y’emu awanjagidde abantu bonna okwegata mu kiseera kino oluvanyuma lw’okulonda, okusobola okutwala Kayunga mu maaso, ng’ensonga zonna eziyinza okubawula, ye ssaawa okudda ebbali.

Ate Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) nga Pulezidenti w’ekibiina ki NUP naye avuddeyo oluvanyuma lwa Muwonge owa NRM okuwangula omuntu we mu disitulikiti y’e Kayunga.

Bobi Wine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book era agambye nti, Pulezidenti Museveni asobodde okubba obuwanguzi bw’abantu emisana ttuku, okulangirira munnakibiina kye nti awangudde okulonda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=yjVSYrE0awQ