Poliisi ekutte abazadde ku misango gy’okwekobaana ne bakkiriza omwana okusula n’ebisolo, mbu yali abalemesa okusinda obulungi omukwano.

Peter Magoola myaka 31 ne mukyala we Ruth Mirembe myaka 27, nga batuuze mu Katawuni k’e Buyala mu Divizoni y’e Jinja North mu kibuga kye Jinja, bakwattiddwa ku misango gy’okutulugunya omwana myaka 9.

Omwana, abadde asula n’ebisolo omuli embizi, bamukuba emiggo, ennaku zimu talya ng’ali mu mbeera mbi.

Abakwate n’omwana

Lilian Nabwonso, omu ku batuuze agamba nti omwana abadde alya ku mmere ya mbizzi, era abadde asemberedde okufuna obuwuka.

Mirembe agamba nti omwana wa muggya we abadde alina emizimu era yafuna amagezi okuva ku batuuze nti omwana alina okumuteeka mu kiyumba ky’embizzi, okusobola okutiisa emizimu okudduka okudda mu mbizzi.

Ate Magoola agamba nti abadde tamanyi nti mutabani we alya ku mmere ya  mbizzi, kwe kusaba Poliisi okusonyiyibwa.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira – Jinja, agamba nti omwana abadde asemberedde okufa.

Agamba nti wadde omwana wa myaka 9, olw’embeera, kiraga nti ali mu myaka 2.

Mubi agamba nti mu kiseera kino omwana atwaliddwa mu ddwaaliro ly’abaana e Nalufenye okufuna obujanjabi ate Magoola ne Mirembe baguddwako emisango gy’okulagajjalira era okunoonyereza kutandikiddewo.

Eddoboozi lya Mubi