Omuntu omu afiiridde mu Kabenje ku luguudo lwe Gulu – Kampala ate abalala bana (4) batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi.

Afudde ategerekeseko nga Doreen Angee myaka 25 abadde ava Kampala okudda mu kibuga kye Gulu ng’ali ne banne bana (4) okuli Daniel Kilara, Mercy Pamela Apiyo, Margret Atimango ne Fiona Alobo nga bali mu mmotoka ekika kya Nissan Xtrail namba UBA /247Y.

Okusinzira ku Lipoota ya Poliisi, Nissan Xtrail yabadde evugibwa Fiona Alobo ku ssaawa nga 5 ez’ekiro kwe kuyingirira Tuleera ekika kya Mercedes Benz namba UBK /09C/ ZF-4408 ku kyalo Barogal mu Tawuni Kanso y’e Palenga mu disitulikiti y’e Omoro okumpi ne offiisi za World Food Program.

Omu ku basirikale agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti Nissan yatomedde Tuleera, Tuleera bwe yabadde egezaako okuyingira ekkubo.

Omusirikale agamba nti Angee ne Alobo baatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Gulu ate Angee yafudde bakatuuka mu ddwaaliro ku ssaawa nga 8 ez’ekiro ate abalala okuli Atimango, Kilara ne Apiyo baasindikiddwa mu ddwaaliro lya FLAMA Health Care Center mu kibuga kye Gulu kyokka oluvanyuma basindikiddwa mu ddwaaliro lya St. Mary’s Hospital Lacor okwongera okufuna obujanjabi.

Ddereeva wa Tuleera aliira ku nsiko mu kiseera kino wabula Poliisi egamba nti emmotoka ye ne Nissan Xtrail zitwaliddwa ku Poliisi y’e Koro.

Poliisi y’e Koro etandiise okunoonyereza ekiyinza okuba nga kyavuddeko akabenje era omusango guli ku fayiro namba TAR 74/2021.

Julius Okello Opira, memba okuva mu Music and Entertainment Network ekimu ku kibiina ekigata abayimbi mu bitundu bye Gulu, agamba nti abantu bonna abana (4) abaabadde mu mmotoka ya Nissan Xtrail bayimbi era baabadde bava mu Kampala okukima Angee kati omugenzi eyabadde akomyewo mu Uganda nga balina ekivvulu ku Bomah Hotel mu kibuga Gulu.

Okello agamba nti mu bitundu bye Gulu, Daniel Kilara amanyikiddwa nga Judas Rapknowledge era y’omu ku bali mu ddwaaliro lya St. Mary’s Hospital Lacor oluvanyuma lw’okufuna obuvune mu kifuba n’embirizi.

Mu kiseera kino ng’abantu bagenda okulya ennaku enkulu, waliwo akabenje akalala akabadde ku luguudo lwe Kampala – Ggaba wadde temuli muntu afudde.