Kyaddaki Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atadde omukono ku nnongosereza mu tteeka ly’ekittavu kya bakozi ki National Social Security Fund (NSSF) Amendment Act, 2021.

Mu tteeka, omuntu yenna awezezza emyaka 45 ng’aterese ssente ne NSSF okumala emyaka 10 akkirizibwa okugyayo ebitundu 20 ku buli kikumi (100) ku ssente zabeera alinayo.

Mu tteeka, era minisitule y’ekikula ky’abantu, ewereddwa obuyinza okuba kalabalaba w’ekittavvu ky’abakozi ate Minisitule y’ebyensimbi, okwasaganya eby’ensimbi n’okusigibwa.

Mungeri y’emu mu tteeka, buli mukozesa alina, okusasulira abakozi ssente mu kittavvu ky’abakozi.

Ate abaliko obulemu nga basussa emyaka 40 nga baterese emyaka egisukka 10, bakkiriziddwa okufuna ku ssente zaabwe ebitundu 50 ku 100.

Mu tteeka ly’erimu, omukozesa anaalemwa okusasula ensimbi z’omukozi eza NSSF waakusibwanga emyaka etaano (5), ate awe n’engassi ya bitundu 20 ku buli 100 ogw’omugatte gw’ensimbi zaabadde tasasula.

Kinajjukirwa nti Palamenti yakola enoongosereza,  neziyisibwa nga 24, November, 2021 nga kyava ku mukulembeze w’eggwanga, okugaana okussa omukono ku bbago eryasooka okuyisibwa mu Palamenti y’e 10.

Abakozi okuvaayo okubanja ku ssente zaabwe, kyavudde ku mbeera embi wakati mu kulwanyisa Covid-19 nga bangi tebalina kyakulya ate nga balina ssente zaabwe mu NSSF.

Ate kkooti esookerwako e Makindye eragidde ebitongole ebikuuma ddembe okuyimbula bunnambiro, omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija eyakwatibwa sabiiti ewedde.

Okusinzira ku kiwandiiko kya kkooti ekifulumiziddwa omulamuzi wa kkooti esookerwako Irene Nambatya, akkiriza okusaba kwa bannamateeka ba Kakwenza, Eron Kiiza, Nalukoola Luyimbazi ne Samuel Wanda eky’okuyimbula omuntu waabwe.

Mu kkooti, bannamateeka bagambye nti, Kakwenza bukya akwattibwa sabiiti ewedde, Poliisi eremeddwa okumutwala mu kkooti okusukka essaawa 48, ekintu ekimenya amateeka mu kutyoboola eddembe ly’obuntu.

Wabula wadde omulamuzi Nambatya alagidde Poliisi okuyimbula Kakwenza, munnamateeka Kiiza agamba nti balina okutya nti Poliisi eyinza okuziimula ekiragiro kya kkooti.

Mungeri y’emu agambye nti ebiriwo, biraga nti Kakwenza yakubiddwa nnyo era mbu y’emu ku nsonga lwaki batya okumutwala mu kkooti.

Ate munnamateeka Luyimbazi Nalukoola agamba nti singa kkooti egyemera ekiragiro kya kkooti, bagenda kutwala Poliisi mu kkooti.

Kakwenza yakwattiddwa ku misango gy’okuvuma omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ssaako ne mutabani we era omuddumizi w’eggye ly’okuttaka Lieutenant general Muhoozi Kainerugaba, ebigambo ebiyinza okunyiza omuntu yenna.

Wabula omwogezi w’ekitongole kya bambega, Charles Twine agamba nti Kakwenza okweyambisa ‘Twitter’ okuvuma Pulezidenti Museveni nga 24, December, 2021 ne Lt Gen. Muhoozi nga 26, December, 2021, y’emu ku nsonga lwaki yakwattiddwa.